
2
1Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange,
N’oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
2N’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi
N’ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
3Weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya,
N’oliriranga okutegeera.
4Bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
N’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa;
5Kale lw’olitegeera okutya Mukama,
N’ovumbula okumanya Katonda.
62:6 Yob 32:8Kubanga Mukama awa amagezi;
Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera:
72:7 Zab 84:11Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu,
Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;
82:8 1 Sam 2:9Alyoke akuume amakubo ag’omusango,
Era awonye okutambula kw’abatukuvu be.
9Kale lw’olitegeera obutuukirivu n’omusango,
N’eby’ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.
10Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo,
N’okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo;
112:11 Nge 6:22Okuteesa kunaakulabiriranga.
Okutegeera kunaakukuumanga:
12Okukuwonyanga mu kkubo ery’obubi,
Eri abasajja aboogera eby’ekyejo;
132:13 Zab 82:5, Yok 3:19,20Abaleka amakubo ag’obugolokofu,
Okutambuliranga mu makubo ag’ekizikiza;
142:14 Yer 11:15Abasanyuka okukola obubi,
N’ekyejo eky’omubi kye kibawoomera;
152:15 Zab 125:5Amakubo gaabwe makyamukyamu,
N’okugenda kwabwe kwenyoolanyoola:
162:16 Nge 7:5Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi,
Eri omugenyi anyumiriza n’ebigambo bye;
172:17 Mal 2:14,15Aleka omukwano ogw’omu buto bwe,
Ne yeerabira endagaano ya Katonda we:
182:18 Nge 7:27Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa,
N’amakubo ge eri abafu:
19Tewali abagenda gy’ali abadda nate,
So tebatuuka mu makubo ag’obulamu:
20Olyoke otambulirenga mu kkubo ery’abasajja abalungi,
N’okwata empenda ez’abatuukirivu.
212:21 Zab 37:9Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi,
N’abo abatuukirira balisigala omwo.
222:22 Zab 37:38; 52:5Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi,
N’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.