
19
119:1 Nge 28:6Omwavu atambulira mu butayonoona bwe
Akira ow’emimwa emikyamu era omusirusiru.
2Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi;
N’oyo ayanguyiriza n’ebigere bye ayonoona.
319:3 Nge 14:20Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika ekkubo lye;
N’omutima gwe gunyiigira Mukama.
4Obugagga bwongera emikwano mingi:
Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe.
519:5 Nge 6:19; 21:28Omujulirwa ow’obulimba taliwona kubonerezebwa;
N’oyo ayogera eby’okudyeka talirokoka.
6Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi:
Era buli muntu aba mukwano gw’oyo awa ebirabo.
719:7 Nge 14:20Omwavu baganda be bonna bamukyawa:
Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala!
Abayigganya n’ebigambo, naye nga bagenze.
8Afuna amagezi ayagala emmeeme ye:
Anyweza okutegeera aliraba ebirungi
9Omujulirwa ow’obulimba taliwona kubonerezebwa;
Naye ayogera eby’obulimba alizikirira.
1019:10 Nge 30:21,22, Mub 10:6,7Okwekanasa tekusaanira musirusiru;
Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya?
1119:11 Nge 14:29, Bar 12:19, Bef 4:32Okuteesa kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala;
Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.
1219:12 Zab 133:3, Nge 16:14,15; 20:2Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma;
Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.
1319:13 Nge 17:21; 27:15Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe:
N’okuyomba kw’omukazi kwe kutonnya olutata.
1419:14 Nge 18:22, 2 Kol 12:14Ennyumba n’obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe:
Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
1519:15 Nge 6:9-11; 20:4,13Obugayaavu buleeta otulo tungi;
N’omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.
1619:16 Nge 13:13, Luk 10:28Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye:
Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.
1719:17 Ma 15:7-11, Nge 12:14; 28:27, Luk 6:38, 2 Kol 9:6,8Asaasira omwavu awola Mukama,
Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.
1819:18 Nge 13:24Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri;
So teweegomba kuzikirira kwe.
19Omuntu ow’ekiruyi ekingi aliriwa:
Kubanga bw’olimuwonya kirigwanira okukola bw’otyo nate omulundi ogw’okubiri.
20Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa,
Obeere n’amagezi enkomerero yo ng’etuuse.
2119:21 Zab 33:10,11, Nge 16:9, Is 14:26,27Mu mutima gw’omuntu mulimu okufumiitiriza kungi;
Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunanyweranga.
22Omuntu ekimwagaza kisa kye:
N’omwavu akira omulimba.
2319:23 Nge 10:16, 1 Tim 4:8Okutya Mukama kuleeta bulamu:
N’oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala;
Talijjirwa bubi.
2419:24 Nge 26:15Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.
2519:25 Nge 9:8; 21:11Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu:
Era buulirira alina okutegeera,
era anaategeera okumanya.
26Anyaga kitaawe n’agoba nnyina,
Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
2719:27 2 Peet 2:21Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa,
Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby’okumanya.
2819:28 Yob 15:16Omujulirwa ataliiko ky’agasa akudaalira omusango:
N’akamwa k’ababi kamira obutali butuukirivu.
2919:29 Nge 26:3, Yob 28:18Emisango gyategekerwa abanyoomi,
N’emiggo gyategekerwa amabega g’abasirusiru.