
18
1Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka,
Era alalukira amagezi gonna amatuufu.
218:2 Nge 13:16Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi.
3Omubi bw’ajja, n’okunyooma kujja,
Era awamu n’okuswazibwa ne wajja n’okuvumibwa.
418:4 Nge 20:5Ebigambo eby’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba:
Oluzzi olw’amagezi mugga ogukulukuta.
5Okukkiriza amaaso g’omubi si kulungi,
Newakubadde okugoba omutuukirivu bw’awoza.
6Emimwa gy’omusirusiru giyingira mu nnyombo,
Akamwa ke ne kasaba emiggo.
718:7 Nge 12:13Akamwa k’omusirusiru kwe kuzikirira kwe,
N’emimwa gye kye kyambika eky’emmeeme ye.
818:8 Nge 26:22Ebigambo eby’omugenyi biri ng’ebiwundu,
Era bikka mu bisenge eby’omu lubuto.
9Era n’oyo atenguwa ng’akola emirimu
Ye muganda w’oyo azikiriza.
1018:10 Zab 61:3, Nge 29:25Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi:
Omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.
1118:11 Nge 10:15Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky’amaanyi,
Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.
1218:12 Nge 11:2; 15:33Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw’omuntu gwegulumiza,
Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
13Addamu nga tannawulira,
Busirusiru n’ensonyi gy’ali.
14Omwoyo gw’omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe;
Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?
15Omutima gw’omutegeevu gufuna okumanya;
N’okutu kw’ab’amagezi kunoonya okumanya.
1618:16 Lub 32:20, 1 Sam 25:27Ekirabo eky’omuntu kimuseguliza,
Era kimutuusa mu maaso g’abakulu.
17Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu;
Naye munne n’ajja n’amukebera.
18Akalulu kalekesaayo ennyombo,
Era kalamula ab’amaanyi.
19Ow’oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky’amaanyi:
Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng’ebisiba eby’ekigo.
2018:20 Nge 12:14Olubuto lw’omuntu lulikkuta ebibala eby’akamwa ke;
Ekyengera eky’omu mimwa gye kirimumala.
21Okufa n’obulamu biba mu buyinza bw’olulimi;
N’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
2218:22 Nge 19:14Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi,
Era afuna okuganja eri Mukama.
2318:23 Yak 2:6Omwavu yeegayirira:
Naye omugagga addamu n’ebboggo.
2418:24 17:17Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira:
Naye waliwo ow’omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow’oluganda.