
17
117:1 Nge 15:17Akamere akaluma awamu n’obutereevu
Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.
2Omuddu akola eby’amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi,
Era aliba n’omugabo ogw’obusika mu b’oluganda.
317:3 1 Byom 29:17, Zab 26:2, Nge 27:21, Yer 17:10Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n’ekikoomi kya zaabu:
Naye Mukama ye akema emitima.
4Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi;
N’omulimba awulira olulimi olw’ettima.
517:5 Yob 31:29, Nge 14:31; 24:17, Ob 13Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we:
N’oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa.
6Abaana b’abaana ngule ya bakadde;
N’abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe.
7Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru:
Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira?
8Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g’oyo ali nakyo:
Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.
917:9 Nge 10:12; 16:28Abikka ku kusobya anoonya okwagala:
Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab’omukwano ennyo.
10Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera
Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru.
1117:11 1 Bassek 2:29Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere;
Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
1217:12 2 Sam 17:8, Kos 13:8Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n’omuntu,
Aleme okusisinkana n’omusirusiru mu busirusiru bwe.
1317:13 2 Sam 12:11, Zab 109:5Asasula obubi olw’obulungi,
Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
1417:14 Nge 20:3; 25:8Okutanula okuyomba kuli ng’omuntu bw’aggulira amazzi:
Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.
1517:15 Kuv 23:7, Nge 18:5; 24:24, Is 5:23Awa omubi obutuukirivu n’oyo asalira omutuukirivu okumusinga,
Bombi benkana okuba ab’omuzizo eri Mukama.
16Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw’omusirusiru okugula amagezi,
Nga talina kutegeera?
1717:17 Luus 1:16, Nge 18:24Ow’omukwano ayagala mu biro byonna,
Era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.
1817:18 Nge 6:1Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo,
N’afuuka omuyima mu maaso ga munne.
1917:19 Nge 29:23Ayagala okuyomba ayagala okusobya:
Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.
20Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw’alaba:
N’oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi.
2117:21 Nge 19:13Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike:
Era kitaawe w’omusirusiru talina ssanyu.
2217:22 Zab 22:15, Nge 15:13Omutima ogujaguza ddagala ddungi:
Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.
2317:23 Kuv 23:8, Mi 3:11Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba,
Okukyamya amakubo ag’okusala omusango.
2417:24 Ma 30:11-14, Nge 14:6Amagezi gaba mu maaso g’oyo alina okutegeera:
Naye amaaso g’omusirusiru gaba mu njuyi z’ensi ezikomererayo.
2517:25 Nge 10:1Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe,
Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.
26Era okubonereza omutuukirivu si kulungi,
Newakubadde okukuba abalungi ng’obalanga obugolokofu bwabwe,
2717:27 Nge 10:19Aziyiza ebigambo bye alina okumanya:
N’oyo alina omwoyo ogw’emmizi muntu mutegeevu.
28Era n’omusirusiru bw’asirika bamuyita wa magezi:
Bw’abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.