
16
116:1 Mat 10:19Okutegeka omutima kugwanira muntu:
Naye okwanukula kw’olulimi kuva eri Mukama.
216:2 Nge 21:2; 24:12Amakubo gonna ag’omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye:
Naye Mukama apima emyoyo.
316:3 Zab 37:5Emirimu gyo giterese Mukama,
N’ebirowoozo byo binaanywezebwanga.
416:4 Yob 21:30, Bar 9:22Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo:
Weewaawo, era n’ababi yabakolera olunaku olw’okulabirako ennaku.
516:5 Nge 11:21, Luk 16:15Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama:
Omukono newakubadde nga gwegatta n’omukono, taliwona kubonerezebwa.
616:6 Nge 14:16, Dan 4:27Okusaasira n’amazima bye birongoosa obutali butuukirivu:
Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
716:7 Lub 26:28, 2 Byom 17:10, 1 Peet 3:13Amakubo ag’omuntu bwe gasanyusa Mukama,
Atabaganya naye era n’abalabe be.
816:8 Nge 15:16Akatono akaliko obutuukirivu
Kakira amagoba mangi wamu n’ebitali bya nsonga.
916:9 Nge 19:21; 20:24, Yer 10:23Omutima gw’omuntu guteesa ekkubo lye:
Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye.
1016:10 1 Bassek 3:28Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka:
Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango.
1116:11 Nge 11:1Ebigera n’eminzaani ebituufu biba bya Mukama:
Ebipima byonna eby’omu nsawo mulimu gwe.
1216:12 Nge 29:14, Is 16:5Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka:
Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe.
1316:13 Nge 22:11Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira;
Era baagala oyo ayogera eby’ensonga.
1416:14 25:15Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa:
Naye omuntu ow’amagezi alibukkakkanya.
15Mu musana ogw’amaaso ga kabaka mwe muli obulamu;
N’okuganza kwe kire kya mu ttoggo.
1616:16 Nge 8:10,11,19Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu!
Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.
1716:17 Nge 4:27Oluguudo olw’abagolokofu kuleka bubi:
Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye.
1816:18 Nge 11:1Amalala gakulembera okuzikirira,
N’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19Aba n’omwoyo ogwetoowaza wamu n’abaavu
Akira agereka omunyago wamu n’ab’amalala.
2016:20 Zab 2:12Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi:
Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.
21Alina omutima ogw’amagezi banaamuyitanga mutegeevu:
N’obuwoomerevu bw’emimwa bwongera okuyiga.
2216:22 Nge 10:11Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo:
Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira.
2316:23 Mat 12:34Omutima gw’ow’amagezi guyigiriza akamwa ke,
Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.
2416:24 Zab 19:10Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki,
Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba.
2516:25 Nge 14:12Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi,
Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.
2616:26 Mub 6:7Omululu gw’omukozi gumukolera emirimu.
Kubanga akamwa ke kamwegayirira.
2716:27 Nge 6:12,14, Yak 3:6Omuntu ataliiko ky’agasa agunja ettima:
Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola.
2816:28 Nge 17:9; 26:20Omuntu omubambaavu asiga empaka:
Era omulyolyomi akyayisa ab’omukwano ennyo.
29Omuntu ow’ekyejo asendasenda munne,
N’amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby’obubambaavu:
Aluma emimwa atuukiriza obubi.
3116:31 Nge 20:29Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa,
Gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.
3216:32 Nge 14:29; 25:28Alwawo okusunguwala asinga ab’amaanyi;
N’afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga.
3316:33 Nge 29:26, Bik 1:26Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw’omu kifuba;
Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama.