
15
115:1 Balam 8:1-3, 1 Sam 25:10-13, 1 Bassek 12:13-16, Nge 15:15Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekuruyi:
Naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.
215:2 Nge 12:23Olulimi lw’ab’amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana:
Naye akamwa k’abasirusiru kayiwa obusirusiru.
315:3 Yob 31:4, Nge 5:21, Yer 16:17, Zek 4:10, Beb 4:13Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo,
Nga galabirira ababi n’abalungi.
415:4 Nge 11:3; 12:18Olulimi oluwonya muti gwa bulamu:
Naye bwe luba n’obukyamu, omwoyo gumenyeka.
515:5 Nge 13:18Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe:
Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu.
6Mu nnyumba ey’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi:
Naye mu magoba ag’omubi mulimu okulaba ennaku.
715:7 Mat 12:34,35Emimwa gy’ab’amagezi gibunya okumanya:
Naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
815:8 Nge 21:27; 28:9, Is 1:11,15; 66:3, Yer 6:20, Am 5:22Ssaddaaka ey’omubi ya muzizo eri Mukama:
Naye okusaba kw’abagolokofu kw’asanyukira.
915:9 Nge 21:21, Is 51:1, 1 Tim 6:11Ekkubo ery’omubi lya muzizo eri Mukama:
Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.
1015:10 Nge 12:1Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini:
Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
1115:11 1 Sam 16:7, 2 Byom 6:30, Yob 26:6, Yok 2:24,25Amagombe n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama:
Kale emitima gy’abaana b’abantu tegisinga nnyo?
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa:
Tayagala kugenda eri ab’amagezi.
1315:13 Nge 12:25; 17:22Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso:
Naye obuyinike obw’omutima bwe bumenya omwoyo.
1415:14 Nge 14:6Omutima gw’oyo alina okutegeera gunoonya okumanya:
Naye akamwa k’abasirusiru emmere yaako busirusiru.
15Ennaku zonna ez’abo ababonyaabonyezebwa mbi:
Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.
1615:16 Zab 37:16, Nge 16:8, Mub 4:6Akatono akaliko okutya Mukama
Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike.
1715:17 Nge 17:1Amaluma awali okwagalana
Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.
1815:18 Nge 14:29; 29:22Omuntu ow’obusungu asaanuula oluyombo:
Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.
19Ekkubo ery’omugayaavu liri ng’olukomera olw’amaggwa:
Naye oluwenda olw’abagolokofu lufuuka oluguudo.
2015:20 Nge 10:1, Nge 21:2; 24:12Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe:
Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
2115:21 Bef 5:15Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi:
Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge.
2215:22 Nge 11:14Awatali magezi okuteesa kufa:
Naye kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo.
23Omuntu asanyukira okuddamu okw’omu kamwa ke:
N’ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
2415:24 Bak 3:2Eri ow’amagezi ekkubo ery’obulamu lyambuka waggulu,
Alyoke ave mu magombe wansi.
2515:25 Zab 146:9, Nge 23:10Mukama alisimbula ennyumba ey’ab’amalala:
Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.
26Okusala enkwe embi kwa muzizo eri Mukama:
Naye ebigambo ebisanyusa biba birongoofu.
2715:27 Yos 6:18; 7:25, Nge 1:19; 17:23Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye:
Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu.
2815:28 1 Peet 3:15Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula:
Naye akamwa k’ababi kafuka ebitasaana.
2915:29 Zab 145:18,19, Yok 9:31Mukama aba wala ababi:
Naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
30Omusana ogw’amaaso gusanyusa omutima:
N’ebigambo ebirungi bigezza amagumba.
31Okutu okuwulira okunenya okw’obulamu
Kunaabeeranga mu b’amagezi.
3215:32 Nge 8:33,36Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye:
Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera.
3315:33 Nge 1:7; 18:12; 29:23Okutya Mukama amagezi kwe gayigiriza;
Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.