
13
113:1 1 Sam 2:25Omwana ow’amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe:
Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa.
213:2 Nge 12:14Omuntu anaalyanga ebirungi olw’ebibala eby’akamwa ke:
Naye emmeeme ey’abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo.
313:3 Nge 18:7; 21:23Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe:
Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n’okuzikirira.
413:4 Nge 6:9-11Emmeeme ey’omugayaavu yeegomba n’eteba na kintu:
Naye emmeeme ey’abanyiikivu eneegejjanga.
5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba:
Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi.
613:6 Nge 11:3Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu:
Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi.
713:7 Nge 11:24, Luk 12:21Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu:
Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng’alina obugagga bungi.
8Obugagga bwe bununula obulamu bw’omuntu:
Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna.
913:9 Yob 18:5; 29:3Omusana ogw’abatuukirivu gusanyuka:
Naye ettabaaza ey’ababi erizikizibwa.
10Amalala galeeta okuwakana okwereere:
Naye amagezi gaba n’abo abateesa obulungi.
1113:11 Nge 20:21; 21:6Obugagga obufunibwa olw’ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa:
Naye oyo akuŋŋaanya ng’akola emirimu aliba n’okwala.
1213:12 Nge 3:18Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme:
Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.
1313:13 Kubal 15:31, 2 Byom 36:16Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira:
Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera.
1413:14 Nge 10:11; 14:27Etteeka ery’omugezigezi nsulo ya bulamu,
Okuva mu byambika eby’okufa.
15Okutegeera okulungi kuleeta okuganja:
Naye ekkubo ery’abasala enkwe bbi.
1613:16 Nge 15:2; 18:2, Mub 10:3Buli muntu omutegeevu akola emirimu n’okumanya:
Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru.
1713:17 Nge 25:13Omubaka ow’ekyejo agwa mu bubi:
Naye omutume omwesigwa kwe kulaama.
1813:18 Nge 15:5,32Obwavu n’ensonyi biriba by’oyo agaana okubuulirirwa:
Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa.
19Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme:
Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.
20Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi:
Naye munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.
2113:21 Zab 32:10, Luk 6:38Obubi bugoberera abalina ebibi:
Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi.
2213:22 Yob 27:16Omuntu omulungi alekera obusika abaana b’abaana be:
N’obugagga bw’oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu.
23Mu nnimiro ez’abaavu mulimu emmere nnyingi:
Naye wabaawo azikirizibwa olw’obutagoberera nsonga.
2413:24 Nge 10:18; 22:15Atakwata muggo gwe akyawa omwana we:
Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.
25Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta:
Naye olubuto lw’ababi lulirumwa enjala.