
12
112:1 Nge 5:2Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya:
Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo.
212:2 Nge 8:35Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa:
Naye omuntu ow’enkwe embi alimusalira omusango okumusinga.
312:3 Nge 10:25Omuntu taanywezebwenga lwa bubi:
Naye emmizi gy’abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna.
412:4 Nge 14:30; 31:10, Lu 3:11Omukazi eyeegendereza ngule eri bba:
Naye aswaza kivundu mu magumba ge.
512:5 Mat 12:35Ebirowoozo eby’abatuukirivu bya nsonga:
Naye ababi bye bateesa bulimba.
612:6 Nge 14:3Ebigambo eby’ababi bya kutega musaayi:
Naye akamwa k’abagolokofu kalibawonya.
712:7 Yob 34:25, Nge 10:25,30Ababi bameggebwa ne babula:
Naye ennyumba ey’abatuukirivu eriyimirira.
8Omuntu alisiimibwa ng’amagezi ge bwe gali:
Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa.
9Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu,
Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby’okulya.
1012:10 Ma 25:4Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw’ensolo ye:
Naye okusaasira kw’ababi kukambwe.
1112:11 Nge 28:19Alima ensi ye aliba n’emmere nnyingi:
Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera.
12Omubi yeegomba ekitimba ky’abasajja ab’ekyejo:
Naye ekikolo eky’abatuukirivu kibala ebibala.
1312:13 Nge 18:7; 21:23, Mat 12:37Mu kusobya kw’emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow’ekyejo:
Naye omutuukirivu aliva mu kulaba ennaku.
1412:14 Nge 13:2; 18:20, Is 3:10,11Omuntu alikkuta ebirungi olw’ebibala eby’akamwa ke:
N’ebikolwa eby’emikono gy’omuntu alibisasulibwa.
1512:15 Nge 3:7; 16:2Ekkubo ery’omusirusiru ddungi mu maaso ge ye:
Naye ow’amagezi awulira okuweererwa ebigambo.
16Okweraliikirira kw’omusirusiru kumanyibwa mangu ago:
Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi.
1712:17 Nge 6:19Ayatula eby’amazima ayolesa obutuukirivu,
Naye omujulirwa ow’obulimba ayolesa obukuusa.
1812:18 Zab 57:4Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala:
Naye olulimi lw’ab’amagezi kwe kulaama.
19Omumwa ogw’amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna:
Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera.
20Okudyeka kuli mu mitima gy’abo abateesa obubi:
Naye abateesa emirembe baba n’essanyu.
2112:21 Zab 91:10, Bar 8:28Omutuukirivu talibaako kabi k’aliraba:
Naye ab’ekyejo balikkuta obubi.
2212:22 Nge 6:17; 11:1,20Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama
Naye abo abakola eby’amazima b’asanyukira.
23Omuntu omutegeevu akisa okumanya:
Naye omutima gw’abasirusiru gulaalika obusirusiru.
24Omukono gw’abanyiikivu gulifuga:
Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw’obuddu.
2512:25 Nge 15:13Ennaku bwe ziba mu mutima gw’omuntu zigukutamya;
Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
26Omutuukirivu aba musaale eri munne:
Naye ekkubo ery’ababi libawabya.
27Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky’akutte ng’ayigga;
Naye ebintu eby’omuwendo omungi eby’abantu biba bya munyiikivu.
2812:28 Nge 10:2Mu kkubo ery’obutuukirivu mwe muli obulamu;
Ne mu luwenda lw’abo temuli kufa.