
11
111:1 Leev 19:35,36, Nge 16:11; 20:10,23Eminzaani ey’obulimba ya muzizo eri Mukama:
Naye ekipima ekituufu ky’asanyukira.
211:2 Nge 16:18; 18:12; 29:23, Dan 4:30,31Amalala lwe gajja, lwe wajja n’ensonyi:
Naye amagezi gaba n’abeetoowaza.
311:3 Nge 13:6Obutayonoona obw’abagolokofu bulibaluŋŋamya:
Naye obubambaavu bw’abo abasala enkwe bulibazikiriza.
411:4 Lub 7:1, Ez 7:19, Zef 1:18Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw’obusungu:
Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
5Obutuukirivu bw’oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye:
Naye omubi aligwa olw’obubi bwe ye.
611:6 Zab 7:15,16Obutuukirivu obw’abagolokofu bulibawonya:
Abo abasala enkwe balikwasibwa n’ettima lyabwe bo.
711:7 Nge 10:28Omuntu omubi bw’afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga:
N’essuubi ery’obutali butuukirivu libula.
811:8 Nge 21:18Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku,
Omubi n’adda mu kifo kye.
9Atamanyi Katonda azikiriza munne n’akamwa ke:
Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw’okumanya.
1011:10 Nge 28:12Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka:
Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana.
11Omukisa ogw’abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga:
Naye akamwa k’ababi ke kakisuula.
1211:12 Nge 14:21Anyooma munne abulwa amagezi:
Naye omuntu alina okutegeera asirika.
1311:13 Leev 19:16, Nge 20:19Atambulatambula ng’alyolyoma abikkula ebyama:
Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo.
1411:14 Nge 15:22; 20:18; 24:6Okuluŋŋamya okw’amagezi nga kubuze, abantu bagwa:
Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
1511:15 Nge 6:1Eyeeyimirira oyo gw’atamanyi alibalagalwa:
Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira.
16Omukazi ow’ekisa aguguba n’ekitiibwa:
N’abasajja ab’amawaggali baguguba n’obugagga
1711:17 Mat 5:7; 25:34-40Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye:
Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye.
1811:18 Kos 10:12, Bag 6:8,9, Yak 3:18Omubi afuna empeera emulimbalimba:
Naye oyo asiga obutuukirivu aba n’empeera ey’enkalakkalira.
1911:19 Nge 10:16, Bar 6:23Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu:
N’oyo agoberera obubi yetta yekka.
2011:20 1 Byom 29:17, Zab 119:1Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama:
Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b’asanyukira.
2111:21 Nge 16:5Omukono newakubadde nga gwegatta n’omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa:
Naye ezzadde ery’abatuukirivu liriwonyezebwa.
22Ng’ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y’embizzi,
Bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalina kuteesa.
2311:23 Bar 2:8Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa:
Naye ababi kye basuubira busungu.
2411:24 Nge 13:7Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala;
Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.
2511:25 Mat 7:2, 2 Kol 9:6Emmeeme egabagaba eneegejjanga:
N’oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini.
26Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira:
Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw’oyo agitunda.
2711:27 Es 7:10, Nge 11:6Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n’okuganja:
Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga.
2811:28 Zab 92:12, Mak 10:24, Luk 12:20,21, 1 Tim 6:17Eyeesiga obugagga bwe aligwa:
Naye abatuukirivu banaayeranga ng’amalagala amabisi.
2911:29 Nge 15:27, Mub 5:16Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo:
N’omusirisuru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
3011:30 Nge 3:18Ebibala by’omutuukirivu muti gwa bulamu:
N’oyo alina amagezi afuna emmeeme z’abantu.
3111:31 1 Peet 4:18Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi:
Omubi n’omwonoonyi tebalisinga nnyo?