
1
11:1 1 Bassek 4:32, Nge 10:1; 25:1, Mub 12:9Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2Okumanyanga amagezi n’okuyigirizibwanga;
Okwawulanga ebigambo eby’okutegeera;
31:3 Nge 2:9Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby’amagezi,
Obutuukirivu n’okusalanga emisango n’okugobereranga ensonga;
4Okuwanga abatalina magezi obukabakaba,
Omulenzi abeerenga n’okumanya n’okuteesa:
5Ow’amagezi awulire yeeyongerenga okuba n’okuyiga;
Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu:
61:6 Zab 78:2Okutegeeranga olugero n’ekifaananyi;
Ebigambo eby’abagezigezi n’ebikokko byabwe.
71:7 Yob 28:28, Zab 111:10, Nge 9:10; 15:33Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera:
Naye abasirusiru banyooma amagezi n’okuyigirizibwanga.
8Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo,
So tova mu tteeka lya nnyoko:
91:9 Lub 41:42, Dan 5:29Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo,
N’emikuufu egyetoolodde obulago bwo.
10Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda,
Tokkirizanga.
11Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna,
Tuteege omusaayi,
Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga;
121:12 Kubal 16:32,33Tubamire nga bakyali balamu ng’amagombe,
Era nga bakyali balamba ng’abo abakka mu bunnya;
13Tuliraba ebintu byonna eby’omuwendo omungi,
Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago;
14Oneekubira akalulu wamu naffe;
Fenna tunaabanga n’ensawo emu:
151:15 Zab 1:1Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo:
Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe:
161:16 Is 59:7, Bar 3:15Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi,
Era byanguwa okuyiwa omusaayi.
17Kubanga bategera bwereere ekitimba,
Ennyonyi yonna ng’ekiraba:
18Era abo bateega omusaayi gwabwe bo,
Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.
19Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba;
Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.
201:20,21 Nge 8:1-3; 9:3Amagezi googerera waggulu mu luguudo;
Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi;
21Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky’okukuŋŋaaniramu;
Awayingirirwa mu miryango,
Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago:
22Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi?
N’abanyooma okusanyukiranga okunyooma,
N’abasirusiru okukyawanga okumanya?
231:23 Yo 2:28Mukyuke olw’okunenya kwange:
Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli,
Naabamanyisanga ebigambo byange.
241:24 Is 65:12, Yer 7:13, Zek 7:11, Bar 10:21Kubanga mpise, mmwe ne mugaana;
Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
251:25 Zab 107:11, Luk 7:30Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna,
So temwagadde kunenya kwange n’akatono:
261:26 Zab 2:4Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku;
Ndikudaala entiisa yammwe bw’erituuka;
27Entiisa yammwe bw’erituuka ng’omuyaga,
N’ennaku ze muliraba bwe zirijja ng’embuyaga ez’akazimu;
Okweraliikirira n’obubalagaze bwe biribajjira.
281:28 1 Sam 8:18, Mi 3:4Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu;
Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
291:29 Yob 21:14Kubanga baakyawanga okumanya,
So tebeerobozanga kutya Mukama:
301:30 Zab 107:11Tebaayagalanga kuteesa kwange n’akatono;
Baanyoomanga okunenya kwange kwonna:
311:31 Yer 6:19Kyebaliva balya ku bibala eby’ekkubo lyabwe bo,
Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
321:32 Yer 2:19Kubanga okudda ennyuma okw’abatalina magezi kulibatta,
N’okulaba omukisa okw’abasirusiru kulibazikiriza.
331:33 Zab 25:13; 112:7Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe,
Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.