
27
127:1 Kubal 26:33; 36:1-11, Yos 17:3Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab’oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza. 2Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’abakulu n’ekibiina kyonna, ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu, nga boogera 327:3 Kubal 16:1-3nti Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky’abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi. 427:4 Yos 17:4Ekinaaba kiggisaawo ki erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe. 527:5 Kuv 18:19Musa n’atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama. 6Mukama n’agamba Musa nti 727:7 Kubal 36:2Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe. 8Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw’anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe. 9Era bw’anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe. 10Era bw’anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika. 1127:11 Kubal 35:29, Luus 4:3-6Era kitaawe bw’anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa.
1227:12 Kubal 33:47, Ma 3:27; 32:49Awo Mukama n’agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri. 13Kale bw’onoomala okugirengera, naawe olikuŋŋaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakuŋŋaanyizibwa: 1427:14 Kubal 20:1,12,13kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw’ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag’e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.) 15Musa n’agamba Mukama nti 1627:16 Kubal 16:22Mukama, Katonda w’emyoyo gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina, 1727:17 Ma 31:2, 1 Sam 8:20, 1 Bassek 3:7; 22:17, Mat 9:36anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng’endiga ezitalina musumba. 1827:18 Lub 41:38, Ma 34:9, Balam 3:10Mukama n’agamba Musa nti Twala Yoswa mutabani wa Nuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo; 1927:19 Ma 31:7omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna; omukuutirire mu maaso gaabwe. 2027:20 Yos 1:16-18Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri bawulirenga. 2127:21 Kuv 28:30, Yos 9:14, 1 Sam 23:9; 28:6Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw’omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n’abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna. 22Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira: n’atwala Yoswa, n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna: 23n’amuteekako emikono, n’amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n’omukono gwa Musa.