
9
19:1 Yos 7:6, 1 Sam 4:12, 2 Sam 3:31, Nek 8:2Awo ku lunaku olw’abiri mu nnya olw’omwezi guno abaana ba Isiraeri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka. 29:2 Ezer 6:21; 10:11, Nek 10:28; 13:3,30Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe. 39:3,4 Nek 8:7,8Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky’amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky’olunaku eky’okuna; n’ekitundu eky’okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe. 4Awo ne wayimirira ku madaala g’Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n’eddoboozi ddene. 59:5 1 Byom 29:13Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n’okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery’ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n’okutendereza. 69:6 Lub 1:1; 2:1, Ma 6:4; 10:14, 2 Bassek 19:15, Zab 36:6, Kub 10:6Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, ensi n’ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n’eggye ery’omu ggulu likusinza. 79:7 Lub 11:31; 17:5, Zab 106:45Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n’omuggya mu Uli ey’Abakaludaaya, n’omuwa erinnya Ibulayimu; 89:8 Lub 15:6,18-21; 17:7-9, Yos 23:14n’olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n’olagaana naye endagaano okuwa ensi ey’Omukanani n’Omukiiti n’Omwamoli n’Omuperizi n’Omuyebusi n’Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo; kubanga ggwe mutuukirivu. 99:9 Kuv 3:7; 14:10Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri n’owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly’Ennyanja Emmyufu; 109:10 Kuv 7:2-6; 9:16; 18:11, Is 63:12,14, Yer 32:20, Dan 9:15n’olaga obubonero n’eby’amagero ku Falaawo n’abaddu be bonna n’abantu bonna ab’omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby’amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero. 11Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n’okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n’abo abaabagoberera n’obakasuka mu buziba ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi. 129:12 Kuv 13:21, Kubal 14:14, 1 Kol 10:1Era nate n’obaluŋŋamya ng’oyima mu mpagi ey’ekire emisana; era ng’oyima mu mpagi ey’omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu. 139:13 Kuv 19:20; 20:1-17, Zab 19:8,9, Bar 7:12Era wakka ku lusozi Sinaayi, n’oyogera nabo ng’oyima mu ggulu n’obawa ensala entuufu n’amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n’ebiragiro: 149:14 Lub 2:2,3, Kuv 16:23; 20:8-11; 31:13-17, Ez 20:12,20n’obamanyisa ssabbiiti yo entukuvu, n’obalagira ebiragiro n’amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo: 159:15 Kuv 16:14,15; 17:6, Kubal 20:10,11, Ma 1:8, Zab 78:15-16,24,25; 105:40,41, Yok 6:31, 1 Kol 10:3,4n’obawanga emmere eyava mu ggulu olw’enjala yaabwe, n’obaggira amazzi mu lwazi olw’ennyonta yaabwe, n’obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa. 169:16,17 Ma 31:27, 2 Byom 30:8, Bik 7:51Naye bo ne bajjajjaffe ne bakola eby’amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo, 179:17 Kuv 34:6, Kubal 14:4,18, Nek 9:31, Zab 78:11,42,43; 86:5,15, Yo 2:13ne bagaana okugondu so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n’otobaleka. 18Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo; 199:19 Zab 106:45 9:19 Kuv 32:4, Zab 78:41,58; 106:19,20, Bik 7:41naye ggwe olw’okusaasira kwo okutali kumu n’otobaleka mu ddungu: empagi ey’ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey’omuliro ekiro okubamulisiza n’okubalaga ekkubo lye baba bayitamu. 209:20 Kuv 16:35, Kubal 11:17, Is 63:11Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n’obawa amazzi olw’ennyonta yaabwe. 219:21 Ma 2:7; 8:4Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n’ebigere byabwe tebyazimbanga. 229:22 Kubal 1:21-31,33-35Era wabawa obwakabaka n’amawanga ge wagaba ng’emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. 239:23 Lub 15:5; 22:17Era n’abaana baabwe wabaaza ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya. 249:24 Zab 44:2,3Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n’owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n’obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n’amawanga ag’omu nsi, babakole nga bwe bayagala. 259:25 Kubal 13:27, Ma 3:5; 6:11; 8:7,8; 9:1Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n’ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez’emizabbibu, n’ez’emizeyituuni, n’emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi. 269:26 Balam 2:11,12, 1 Bassek 14:9; 18:4, 2 Byom 24:20,21, Zab 50:17, Ez 20:21, Bik 7:52Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w’amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy’oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo. 279:27 Balam 2:14,16, Zab 106:41,42,44,45Kyewava obagabulanga mu mukono gw’abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n’obawuliranga ng’oyima mu ggulu; era ng’okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n’obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw’abalabe baabwe. 289:28 Balam 3:11,12, Zab 106:43Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw’abalabe baabwe n’okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n’owulira, ng’oyima mu ggulu; n’obawonyanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kwali; 299:29 Leev 18:5, Ez 20:21, Zek 7:11, Mat 19:17, Bag 3:12n’obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby’amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw’agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira. 309:30 2 Bassek 17:13, Ezer 9:7Naye n’obagumiikiririzanga emyaka mingi, n’obanga mujulirwa eri bo n’omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw’amawanga ag’omu nsi. 319:31 Yer 5:18Naye olw’okusaasira kwo okutali kumu n’otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow’okusaasira. 329:32 Ma 7:21, 2 Bassek 17:3, Nek 1:5Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow’amaanyi, ow’entiisa, akwata endagaano n’okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakunga baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b’e Bwasuli na buli kati. 339:33 Ezer 9:15, Zab 106:6, Dan 9:5Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby’amazima, naye ffe twakolanga obubi: 34so ne bassekabaka baffe n’abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n’emisango gyo bye wategeeza eri bo. 35Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri. 369:36 9:9Laba, tuli baddu leero, n’ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n’obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo. 379:37 Ma 28:33,51Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw’okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n’ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi. 389:38 2 Bassek 23:3, 2 Byom 29:10, Ezer 10:3Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo, tulagaana endagaano ey’enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n’Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.