
2
12:1 Ezer 7:1, Nek 1:1,11Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw’edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge. 2Kabaka n’aŋŋamba nti Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima. Awo ne ndyoka ntya nnyo. 32:3 1 Bassek 1:31, Nek 1:3, Dan 2:4Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo aky’amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n’emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro? 42:4 Ezer 5:12, Nek 1:4,5; 2:20, Dan 2:18Awo kabaka n’aŋŋamba nti Weegayirira ki? Awo ne nsaba Katonda w’eggulu. 5Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw’anaasiima, era oba ng’omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky’amalaalo ga bajjajjange nkizimbe. 6Kabaka n’aŋŋamba, (kaddulubaale naye ng’atudde naye,) nti Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? era olidda ddi? Awo kabaka n’asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera. 72:7 Ezer 8:36Era nate ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw’anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w’omugga, bampiseemu ntuuke mu Yuda; 82:8 Ezer 7:6n’ebbaluwa eri Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez’enzigi z’ekigo eky’ennyumba era eza bbugwe w’ekibuga n’ez’ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n’ampa olw’omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze. 92:9 Ezer 8:22Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w’omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b’eggye n’abeebagala embalaasi. 102:10 Nek 4:1; 6:1; 13:4,28Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo, kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri. 11Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu. 12Ne ngolokoka kiro, nze n’abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala. 132:13 Nek 1:3Ne nvaamu kiro mu luggi olw’omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery’oluzzi olw’ogusota n’omulyango ogw’obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n’emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro. 14Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw’oluzzi n’ekidiba kya kabaka: naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly’eneeyitamu. 15Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw’omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo. 16Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya newakubadde bakabona newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala abaakola omulimu. 172:17 Nek 1:3, Zab 44:13; 79:4, Yer 24:9, Ez 5:14-15Awo ne mbagamba nti Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi, bwe kizise, n’enzigi zaakyo zookeddwa omuliro: mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume. 18Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n’ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugolokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw’omulimu ogwo omulungi. 192:19 Ezer 4:13, Nek 4:1; 6:6Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka? 202:20 Nek 2:4Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w’eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba: naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.