
10
1Era abo abassaako akabonero be bano, Nekkemiya Tirusaasa, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya; 2Seraya, ne Azaliya ne Yeremiya;10:2-27 Nek 12:2-21 3ne Pasukuli ne Amaliya ne Malukiya; 4ne Kattusi ne Sebaniya ne Malluki; 5ne Kalimu ne Meremoosi ne Obadiya; 6ne Danyeri ne Ginnesoni ne Baluki; 7ne Messulamu ne Abiya ne Miyamini; 8ne Maaziya ne Birugayi ne Semaaya: abo be baali bakabona. 9N’Abaleevi: amannya gaabwe, Yesuwa mutabani wa Azaniya ne Binnuyi ow’oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri; 10ne baganda baabwe, Sebaniya ne Kodiya ne Kerita ne Peraya ne Kanani; 11ne Mikka ne Lekobu ne Kasabiya; 12ne Zakkuli ne Serebiya ne Sebaniya; 13ne Kodiya ne Baani ne Beninu. 1410:14-27 Ezer 2:3-35, Nek 7:8-42Abakulu b’abantu: Palosi ne Pakasumowaabu ne Eramu ne Zattu ne Baani; 15ne Bunni ne Azugaadi ne Babayi; 16ne Adoniya ne Biguvayi ne Adini; 17ne Atera ne Keezeekiya ne Azzuli; 18ne Kodiya ne Kasumu ne Bezayi; 19ne Kalifu ne Anasosi ne Nobayi; 20ne Magupiyasi ne Mesullamu ne Keziri; 21ne Mesezaberi ne Zadoki ne Yadduwa; 22ne Peratiya ne Kanani ne Anaya; 23ne Koseya ne Kananiya ne Kassubu; 24ne Kallokesi ne Piruka ne Sobeki; 25ne Lekumu ne Kasabuna ne Maaseya; 26ne Akiya ne Kanani ne Anani; 27ne Malluki ne Kallimu ne Baana. 2810:28 Ezer 2:36-54, Nek 9:2N’abantu abalala bonna, bakabona n’Abanesinimu n’abo bonna abeeyawula mu mawanga ag’omu nsi eri amateeka ga Katonda, bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, buli muntu eyalina okumanya n’okutegeera; 2910:29 Ma 29:12, 2 Bassek 23:3, Nek 5:12,13, Zab 119:106ne beegatta ne baganda baabwe, abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n’ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda agaaweerwa mu Musa omuddu wa Katonda, n’okukwatanga n’okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Mukama waffe, n’emisango gye n’amateeka ge; 3010:30 Ezer 9:2era tulemenga okuwa bawala baffe amawanga ag’omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe; 3110:31 Kuv 20:10; 23:10,11, Leev 23:3; 25:4, Ma 15:1,2, Nek 5:12era amawanga ag’omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba ebyokulya byonna okutundira ku lunaku olwa ssabbiiti, obutagulaaniranga nabo ku ssabbiiti newakubadde ku lunaku olutukuvu: era nga tunaalekanga omwaka ogw’omusanvu, n’okubanjanga ebbanja lyonna. 3210:32 Kuv 30:13, Mat 17:24Era ne tweteekerawo amateeka okwesaliranga buli mwaka ekitundu eky’okusatu ekya sekeri olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda waffe; 3310:33 2 Byom 2:4olw’emigaati egy’okulaga n’olw’ekiweebwayo eky’obutta ekitaggwaawo n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekitaggwaawo, eby’oku ssabbiiti n’eby’oku myezi egyakaboneka, n’olw’embaga egyateekebwawo, n’olw’ebintu ebitukuvu n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangirira Isiraeri, n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe. 3410:34 Leev 6:12, Nek 11:1Ne tukuba obululu, bakabona n’Abaleevi n’abantu, olw’ekiweebwayo eky’enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng’ennyumba za bakitaffe bwe zaali mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka: 3510:35 Kuv 23:19n’okuleetanga ebibala ebibereberye eby’ettaka lyaffe, n’ebibereberye eby’ebibala byonna eby’oku miti egy’engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama: 3610:36 Kuv 13:2,12,13era n’ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n’ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe: 3710:37 Kubal 15:20,21; 18:12, Ma 18:4era nga tunaaleetanga ebibereberye eby’omugoyo gwaffe n’ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n’ebibala eby’oku miti egy’engeri zonna, omwenge n’amafuta, eri bakabona mu bisenge eby’omu nnyumba ya Katonda waffe; n’ebitundu eby’ekkumi eby’ettaka lyaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby’ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira. 38Era kabona mutabani wa Alooni anaabanga wamu n’Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby’ekkumi eky’oku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey’okuterekamu eby’obugagga. 39Kubanga abaana ba Isiraeri n’abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky’eŋŋaano n’eky’omwenge n’eky’amafuta mu bisenge omuli ebintu eby’omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n’abaggazi n’abayimbi: so tetuulekenga nnyumba ya Katonda waffe.