
1
11:1 Nek 2:1, Es 1:2, Dan 8:2, Zek 7:1Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya.
Awo olwatuuka mu mwezi Kisulevu mu mwaka ogw’amakumi abiri, bwe nnali nga ndi mu Susani olubiri, 21:2 Nek 7:2Kanani omu ku baganda bange n’ajja, ye n’abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by’Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n’ebigambo by’e Yerusaalemi. 31:3 2 Bassek 25:10, Nek 2:3,13,17Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n’okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n’emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro. 41:4 Ezer 9:3, Nek 2:4Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu, 51:5 Ma 7:9,21, Nek 4:14; 9:32, Dan 9:4ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akwata endagaano n’okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye: 61:6 1 Bassek 8:29, Ezer 10:1, Zab 106:6, Dan 9:18,20okutu kwo kuwulire nno, n’amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n’ekiro, olw’abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby’abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n’ennyumba ya kitange twayonoona. 71:7 Ma 28:15, Dan 9:5Twakola eby’obukyamu ennyo gy’oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa. 81:8 Leev 26:33, Ma 4:25-27; 28:64Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng’oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga: 91:9 Ma 12:5; 30:2-4naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng’abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y’eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange. 101:10 Ma 9:29Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogw’amaanyi. 111:11 1 Bassek 8:29, 2 Byom 6:40, Dan 9:18Ai Mukama, nkwegayiridde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okusaba kw’abaddu bo abasanyuka okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g’omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.)