
3
13:1 Ez 24:9, Kaab 2:12Zikisanze ekibuga eky’omusaayi! kyonna kijjudde eby’obulimba n’eby’amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu. 23:2 Balam 5:22Okuvuuma kw’olukoba n’okuvuuma kwa bannamuziga abayiringita; n’embalaasi nga zinyirira n’amagaali nga gabuukabuuka; 3n’abo abeebagala nga balinnya n’okumasamasa kw’ekitala n’okumyansa kw’amafumu; era abafu bangi n’emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe. 43:4 Is 47:9,12, Kub 17:2; 18:3Kubanga okwenda kw’omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w’obulogo, atunda amawanga n’eby’obwenzi bye, era enda n’obulogo bwe. 53:5 Yer 13:22, Kaab 2:16Laba, ndi mulabe wo, bw’ayogera Mukama w’eggye; nange ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n’obwakabaka ndibulabisa ensonyi zo. 63:6 Mat 2:9, 1 Kol 4:9Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikuggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa. 73:7 Yer 15:5; 51:9, Zef 2:13Awo olulituuka bonna abalikutunuulira balikudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza? 83:8 Ez 29:3, Am 6:2Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n’ennyanja yabeera bbugwe waakyo? 93:9 2 Byom 12:3, Dan 11:43Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n’Abalubi be baali ababeezi bo. 103:10 Is 13:16; 20:4, Yo 3:3Naye kyatwalibwa, kyagenda mu buddu; n’abaana baakyo abato baatandaggirwa ku masaŋŋanzira g’enguudo zonna; n’ab’ekitiibwa baabakubirako akalulu, n’abakulu be bonna baasibibwa mu njegere. 113:11 Zab 75:8, Yer 25:17,27Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw’abalabe. 123:12 Kub 6:13Ebigo byo byonna biriba nga emitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k’omuli. 133:13 Is 19:16, Yer 51:30Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez’ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo. 143:14 Is 22:11Weesenere amazzi olw’okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky’amatoffaali. 153:15 Yo 1:4; 2:3Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng’enzige. 16Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez’omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuuka ne kagenda. 173:17 Is 13:16; 20:4, Yo 3:3Ababo abatikkiddwa engule baali ng’enzige; abagabe bo ng’ebifuko by’amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw’empewo, naye enjuba bw’evaayo zidduka, n’ekifo we zibeera tekimanyibwa. 18Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w’e Bwasuli; abakulu bo ab’ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. 193:19 Is 37:18, Kung 2:15, Zef 2:15Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna?