
2
12:1 Yer 51:12,20Oyo atandaggira ayambuse mu maaso go; kuuma ekigo, tunuulira ekkubo, nyweza ekiwato kyo, beera n’amaanyi agatasingika. 22:2 Is 5:1-7Kubanga Mukama azzaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng’ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abattuluzi babattuludde ne baaya amatabi g’emizabbibu gyabwe. 3Engazo z’abazira be zisiigibwako gerenge; abantu ab’amaanyi bambadde engoye entwakaavu; ebyuma by’amagaali bimasamasa ku lunaku lw’ateekateeka, era amafumu gagalulwa n’entiisa. 42:4 Nak 3:2Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engazi; gafaanana ng’emimuli, gabuukabuuka ng’emyansa. 52:5 Yer 46:12Ajjukira ab’ekitiibwa ababe; beesittala nga bagenda; banguwa okutuuka ku bbugwe ow’ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa. 62:6 Is 14:31; 45:1Enzigi ez’oku migga zigguddwawo, ennyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo. 72:7 Is 38:14Kuzzabu n’avumbuka, n’atwalibwa, abazaana be ne bakaaba nga n’eddoboozi ly’amayiba nga bakuba mu bifuba byabwe. 82:8 Yer 46:5Naye Nineeve kibaddewo okuva mu nnaku ez’edda ng’ekidiba ky’amazzi; naye badduka; Muyimirire, muyimirire, bwe bakoowoola; naye tewali atunuulira ennyuma. 9Munyage effeeza, munyage ezaabu; ebiterekebwa tebiriiko we bikoma, omuwendo ogw’ebintu byonna ebyegombebwa. 102:10 Is 13:7; 21:3, Dan 5:6, Yo 2:6, Zef 2:13-15Kiri busa, kiri bwereere, kizise: tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana, okulumizibwa kuli mu biwato byonna, era abantu bonna batukulatukula mu maaso olw’entiisa. 112:11 Yer 2:15Empuku y’empologoma eri ludda wa, n’eddiiro ly’empologoma ento, empologoma ensajja n’enduusi we zaatambuliranga, omwana gw’empologoma, so tewali azitiisa? 122:12 Nak 3:1Empologoma yataagulataagula eky’okumala abaana baayo, n’etugira empologoma zaayo enduusi, n’ejjuza empuku zaayo omuyiggo n’ebisolo byayo ebitaagulwa. 132:13 2 Bassek 19:9,23, Zab 46:9, Ez 13:8, Nak 3:5Laba, ndi mulabe wo, bw’ayogera Mukama w’eggye; nange ndyokya amagaali gaakyo mu mukka, n’ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento; era ndiggya ku nsi ky’otaagula, n’eddoboozi ly’ababaka bo teriiwulirwenga nate.