
1
11:1 Is 13:1, Yon 1:2, Kaab 1:1Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky’okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.
21:2 Kuv 20:3Mukama ye Katonda w’obuggya, era awalana eggwanga; era ow’obusungu obungi; Mukama awalana eggwanga abamukyawa, era aterekera abalabe be obusungu. 31:3 Kuv 34:6,7, Zab 97:2; 147:5Mukama tatera kusunguwala, alina amaanyi mangi, so talitaatira n’akatono. Ekkubo lya Mukama liyita mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ze nfuufu z’ebigere bye. 41:4 Is 33:9; 50:2Akangavvula ennyanja n’agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky’oku Lebanooni kibabuse. 51:5 Zab 98:7, Yer 4:24, Kaab 3:6Ensozi zikankana gy’ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu. 61:6 Zab 79:6, Ez 38:20, Mal 3:2Mu maaso g’obusungu bwe ani ayinza okuyimirira? ani ayinza okubeerawo obusungu bwe nga bunyiikidde? obukambwe bwe bufukibwa ng’omuliro, n’enjazi zimenyebwamenyebwa ye. 71:7 Zab 46:1; 100:5, Is 25:4, Yok 10:14,27, 1 Kol 8:3Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw’okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga. 81:8 Yer 46:5Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza. 9Kye muteesa ku Mukama kiki? alimalirawo ddala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw’okubiri. 101:10 Yo 2:5, Mi 7:4Kubanga newakubadde nga bali ng’amaggwa agakwataganye, era nga batobye kwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng’ensambu enkalu. 111:11 2 Bassek 19:22,23Mu ggwe muvudde omu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibi. 121:12 Is 10:33,34; 37:36Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku. 131:13 Is 10:27Era kaakano naamenya ekikoligo kye kive ku ggwe, era naakutulakutula ebikusiba. 141:14 Zab 109:13, Is 30:33, Ez 32:21-23Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa. 151:15 Is 52:7, Yo 3:17, Bar 10:15Laba, ku nsozi ebigere by’oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala.