
1
11:1 Is 1:1, Yer 26:18, Kos 1:1Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
21:2 Zab 11:4; 50:7, Is 1:2, Mal 3:5Muwulire, mmwe ab’amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n’ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng’ayima mu yeekaalu ye entukuvu. 31:3 Is 26:21, Am 4:13Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby’ensi. 41:4 Zab 97:5, Nak 1:5N’ensozi zirisaanuuka wansi we n’enkonko ziryatika ng’ebisenge by’enjuki mu maaso g’omuliro, ng’amazzi agayiikira awali ebbanga. 51:5 2 Byom 28:4Olw’okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n’olw’ebibi eby’ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi? 61:6 1 Bassek 16:24, Mi 3:12Kale ndifuula Samaliya ng’ekifunvu mu ttale; ng’ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo. 71:7 Kos 2:12; 8:6Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n’empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey’omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey’omwenzi. 81:8 Yob 30:29, Is 20:2-4; 22:4Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng’ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya. 91:9 Kos 5:13Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw’abantu bange, era ku Yerusaalemi. 101:10 2 Sam 1:20, Yer 6:26Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba amaziga n’akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu. 11Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng’oli bwereere, era ng’okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo. 121:12 Am 3:6Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng’alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi. 131:13 2 Bassek 18:14,17, Kos 13:1Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe. 14Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky’okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky’obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri. 15Nkyagenda okuleeta gy’oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu. 161:16 Is 22:12Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng’empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa.