
7
17:1 Bar 2:1, 1 Kol 4:5Temusalanga musango, muleme okusalirwa. 27:2 Mak 4:24Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe. 3Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? 4Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe? 5Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.
67:6 Mat 10:11-14Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n’ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.
77:7 Mak 11:24, Luk 11:9-13, Yer 29:13,14, Yok 14:13; 16:23Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo: 8kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo. 9Oba muntu ki mu mmwe, omwana we bw’alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; 10oba bw’alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? 117:11 Yak 1:17Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba? 127:12 Mat 22:39,40, Bar 13:8-10Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
137:13 Luk 13:24, Yok 10:7,9Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. 147:14 Mat 19:24, Bik 14:22Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.
157:15 Mat 24:4,5,24, Bik 20:29Mwekuume bannabbi ab’obulimba, abajjira mu byambalo by’endiga gye muli, naye munda gy’emisege egisikula. 167:16 Bag 5:19-23, Yak 3:12Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango? 177:17 Mat 12:33Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. 18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n’omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. 197:19 Mat 3:10, Yok 15:2,6Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. 20Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. 217:21 Mat 21:29, Bar 2:13, Yak 1:22,25; 2:14, 1 Kol 12:3Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 227:22 Yer 14:14; 27:15, Luk 13:25-27, 1 Kol 13:1,2Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? 237:23 Mat 13:41; 25:41, 2 Tim 2:19, Zab 6:8Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu. 247:24 Mat 7:21Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n’amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: 25enkuba n’etonnya, mukoka n’akulukuta, kibuyaga n’akunta, ne bikuba enju eyo; so n’etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n’atabikola, alifaananyizibwa n’omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu: 277:27 Ez 13:10,11enkuba n’etonnya, mukoka n’akulukuta, kibuyaga n’akunta, ne bikuba enju eyo; n’egwa: n’okugwa kwayo kwali kunene.
287:28 Mat 11:1; 13:53; 19:1; 26:1, Mak 1:22, Luk 4:32Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe: 297:29 Yok 7:46kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abawandiisi baabwe.