
3
13:1 Luk 1:133:1-12 Mak 1:1-8, Luk 3:3-18Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulirira mu ddungu ery’e Buyudaaya, 23:2 Mat 4:17ng’agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka. 33:3 Is 40:3, Yok 1:23Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng’agamba nti
Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti
Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge.
43:4 2 Bassek 1:8Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez’ebyoya by’eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw’eddiba mu kiwato; n’emmere ye yali nzige na mubisi gw’enjuki ez’omu nsiko. 5Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n’ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy’ali; 6n’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe. 73:7 Mat 12:34; 22:33, Lub 3:15Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n’Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n’abagamba nti Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya; 93:9 Bar 2:28,29; 4:12, Yok 8:33,39temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana. 103:10 Luk 13:6-9, Yok 15:6Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro. 113:11 Yok 1:15,26,27,33, Bik 1:5Nze mbabatiza n’amazzi olw’okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n’Omwoyo Omutukuvu n’omuliro. 123:12 Mat 13:30Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.
133:13-17 Mak 1:9-11, Luk 3:21-22, Yok 1:31-34Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya, n’atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. 14Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng’agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi? 15Naye Yesu n’addamu n’amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N’alyoka amukkiriza. 16Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n’alaba Omwoyo gwa Katonda ng’akka ng’ejjiba, ng’ajja ku ye; 173:17 Mat 17:5, Zab 2:7, Is 42:1laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.