
10
110:1-15 Mak 6:7-13, Luk 9:1-5N’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, n’abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n’okuwonyanga endwadde zonna n’obunafu bwonna.
210:2 Mak 3:14-19, Luk 6:13-16, Yok 1:40-49Abatume abo ekkumi n’ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; 3Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; 4Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. 5Yesu n’abatuma abo ekkumi n’ababiri n’ababuulirira, ng’agamba nti
Temugendanga mu makubo g’ab’amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by’Abasamaliya; 610:6 Mat 15:24, Bik 13:46, Yer 50:6naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri. 710:7 Mat 4:17, Luk 10:9Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka. 810:8 Bik 20:33Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. 9Temubeeranga na zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; 1010:10 Luk 10:4, 1 Tim 5:18, Kubal 18:31so n’ensawo etambula, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emmere ye. 11Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 1210:12 Luk 10:5,6Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga. 13Enju bw’esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw’etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. 1410:14 Luk 10:10-12, Bik 13:51; 18:6Era omuntu bw’atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey’omu bigere byammwe. 1510:15 Mat 11:24, Luk 20:47Ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola eriba n’okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw’omusango, okukira ekibuga ekyo.
1610:16 Luk 10:3, Yok 10:12, Bik 20:29, Bar 16:19, Bef 5:15Laba, nze mbatuma ng’endiga wakati mu misege: kale mubanga n’amagezi ng’emisota, era mubanga ng’amayiba obutaba na bukuusa. 1710:17 Mat 24:9Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; 1810:18 Mat 24:14, Bik 25:23; 27:24era mulitwalibwa eri abaamasaza n’eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n’ab’amawanga. 1910:19 Luk 12:11,12Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. 2010:20 Yok 14:26, 1 Kol 2:4Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe. 2110:21 Mat 10:35, Mi 7:6Ow’oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa. 2210:22 Mat 24:9,13, Yok 15:21Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka. 2310:23 Mat 4:17, Luk 10:9Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky’okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w’omuntu lw’alijja.
2410:24 Luk 6:40, Yok 13:16-20Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n’omuddu tasinga mukama we. 2510:25 Mat 12:24Kimumala omuyigirizwa okuba ng’amuyigiriza, n’omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye? 2610:26 Mak 4:22, Luk 8:17Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikkibwa, ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa. 27Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba. 2810:28 Yak 4:12So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena. 29Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: 30era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. 3110:31 Mat 12:12Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. 32Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 3310:33 Luk 9:26Naye yenna alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
3410:34-36 Luk 12:51-53Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. 3510:35 Mi 7:6Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; 36abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. 3710:37 Ma 33:9, Luk 14:26,27Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira. 3810:38 Mat 16:24,25N’oyo atakwata musalaba gwe n’agoberera ennyuma wange, tansaanira. 3910:39 Luk 17:33, Yok 12:25Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
4010:40 Mat 25:40, Mak 9:41Akkiriza mmwe ng’akkirizza nze, akkiriza nze ng’akkirizza eyantuma. 41Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly’omutuukirivu aliweebwa empeera y’omutuukirivu. 4210:42 Mat 25:40, Mak 9:41Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky’amazzi amannyogovu kyokka mu linnya ly’omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n’akatono.