
4
14:1 Is 47:14, Mal 3:2, Mat 3:12, 2 Bas 1:7,8Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. 24:2 Zab 84:11, Is 53:5, Luk 1:78, Yok 8:12; 12:46Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kisibo. 3Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw’ayogera Mukama w’eggye.
44:4 Kuv 20:3-17, Ma 4:9,10Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n’emisango. 54:5 Yo 2:31, Mal 3:1, Mat 11:14Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 64:6 Is 11:4, Luk 1:17Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.