Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


6

16:1-5 Mat 12:1-8, Mak 2:23-28Awo olwatuuka ku ssabbiiti bwe yali ayita mu nnimiro z’eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by’eŋŋaano, ne balya, nga bakunya mu ngalo zaabwe. 26:2 Yok 5:10Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Kiki ekibakoza eky’omuzizo okukolera ku ssabbiiti? 36:3 1 Sam 21:1-6Yesu n’abaddamu n’agamba nti Era kino temukisomangako, Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala ye ne be yali nabo; 46:4 Leev 24:9bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’atoola emigaati egy’okulaga n’alya, era n’agiwa be yali nabo; egy’omuzizo okulya wabula bakabona bokka? 5N’abagamba nti Omwana w’omuntu ye mukama wa ssabbiiti.

66:6-11 Mat 12:9-14, Mak 3:1-6Awo olwatuuka ku ssabbiiti endala, n’ayingira mu kkuŋŋaaniro n’ayigiriza; mwalimu omuntu omukono gwe ogwa ddyo gwali gukaze. 76:7 Luk 14:1Awo abawandiisi n’Abafalisaayo ne bamulabirira, oba ng’anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa. 8Naye n’amanya ebirowoozo byabwe, n’agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Golokoka, oyimirire wakati. N’agolokoka n’ayimirira. 9Awo Yesu n’abagamba nti Mbabuuza mmwe, Kirungi ku ssabbiiti okukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza? 10N’abeetoolooza amaaso bonna, n’amugamba nti Golola omukono gwo. N’akola bw’atyo; omukono gwe ne guwona. 11Naye ne balaluka, ne boogera bokka na bokka bwe banaakola Yesu.

126:12-16 Mak 3:13-19Awo olwatuuka mu nnaku ezo, n’avaayo n’agenda ku lusozi okusaba; n’akeesa obudde ng’asaba Katonda. 136:13 Mat 10:2-4, Yok 6:70, Bik 1:13Awo obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be; mu bo n’alondamu kkumi na babiri, n’okuyita n’abayita abatume; 14Simooni era gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda we, ne Yakobo ne Yokaana, ne Firipo ne Battolomaayo, 15ne Matayo ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwa Zerote, 16ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe; 176:17-19 Mat 4:23—5:1, Mak 3:7-12n’akka nabo, n’ayimirira awatereevu, n’ekibiina kinene eky’abayigirizwa be n’abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n’e Yerusaalemi, n’abaava ku ttale ly’ennyanja ey’e Ttuulo n’e Sidoni, abajja okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe; 18n’abaali babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. 19N’ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna.

206:20-23 Mat 5:3,4,6,11,12N’ayimusiza amaaso abayigirizwa be n’agamba nti Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe. 216:21 Kub 7:16,17, Zab 126:5,6, Is 61:3Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano; kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa, abakaaba kaakano; kubanga muliseka. 226:22 Yok 15:19; 16:2Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga erinnya lyammwe nga bbi, okubavunaanya Omwana w’omuntu. 23Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw’essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi bwe batyo. 246:24 Yak 5:1Naye zibasanze mmwe abagagga! kubanga mumaze okuba n’essanyu lyammwe. 256:25 Is 5:22Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba. 266:26 Yak 4:4, Mi 2:11Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab’obulimba.

276:27-36 Mat 5:39-48Naye mbagamba mmwe abawulira nti Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, 28musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababagirira ekyejo. 29Oyo akukubanga oluba omukyusizanga n’olw’okubiri; n’akuggyangako omunagiro gwo, n’ekkanzu togimugaananga. 30Buli akusabanga omuwanga; n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate. 316:31 Mat 7:12Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo. 32Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n’abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. 33Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n’abantu abalina ebibi bakola bwe batyo. 346:34 Leev 25:35,36Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n’abantu abalina ebibi baazika abalina ebibi, era baweebwe bwe batyo. 35Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n’empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b’Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n’ababi. 36Mube n’ekisa, nga Kitammwe bw’alina ekisa. 376:37-49 Mat 7:1-29Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: 386:38 Mak 4:24Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.

396:39 Mat 15:14; 23:16,24Era n’abagamba n’olugero, nti Omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? tebagwa bombi mu bunnya? 406:40 Mat 10:24,25, Yok 15:20Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw’alituukirizibwa aliba ng’amuyigiriza. 41Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? 42Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo. 43Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. 44Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo. 456:45 Mat 12:34,35Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery’omutima gwe; n’omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.

466:46 Mal 1:6, Mat 7:21Era mumpitira ki Mukama wammwe, Mukama wammwe, so nga temukola bigambo bye njogera? 47Buli muntu yenna ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange n’abikola, nnaabalaga gw’afaanana: 48afaanana ng’omuntu azimba ennyumba n’asima wansi nnyo, omusingi n’agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n’okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa bulungi. 49Naye oyo awulira n’atakola afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n’atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n’egwa amangu ago, n’okugwa kw’ennyumba eyo ne kuba kunene.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda