Bible Reader

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


4

1Mukama n’agamba Musa ng’ayogera nti 24:2 Leev 5:15,17,18, Kubal 15:27, 1 Sam 14:27Buulira abaana ba Isiraeri ng’oyogera nti Omuntu yenna bw’anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n’amala akola kyonna ku ebyo: 34:3 Beb 5:3; 7:27,28kabona eyafukibwako amafuta bw’anaayonoonanga n’okuleeta n’aleetera abantu omusango; awo awengayo olw’ekibi kye ky’ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 4Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ente, n’attira ente mu maaso ga Mukama. 54:5,6 Leev 5:9; 16:14, Kubal 19:4Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw’ente, n’aguleeta eri eweema ey’okusisinkanirangamu: 6awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n’amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g’eggigi ly’awatukuvu. 74:7 Leev 8:15; 9:9Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g’ekyoto eky’okwoterezangako eby’akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey’okusisinkanirangamu; n’omusaayi gwonna ogw’ente anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu. 8N’amasavu gonna ag’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali ku byenda, 9n’ensigo zombi, n’amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n’ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n’ensigo, anabiggyangako, 10nga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa. 114:11 Kuv 29:14, Kubal 19:5N’eddiba ly’ente, n’ennyama yaayo yonna, wamu n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’ebyenda byayo, n’obusa bwayo, 124:12 Leev 6:11, Beb 13:11ente yonna anaagitwalanga ebweru w’olusiisira eri ekifo ekirongoofu, evvu we lifukwa, agyokyenga n’omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy’eneeyokerwanga.

134:13 Leev 5:2-4, Kubal 15:22-26Era oba ng’ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g’ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango; 14ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ne bagireetanga mu maaso g’eweema ey’okusisinkanirangamu. 154:15 Kuv 29:10-14Awo abakadde b’ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw’ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama. 16Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw’ente eri eweema ey’okusisinkanirangamu: 17awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n’agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama mu maaso g’eggigi. 18Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g’ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey’okusisinkanirangamu, n’omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu. 19N’amasavu gaayo gonna anaagagiggyangako, n’agookera ku kyoto. 204:20 Kubal 15:25Bw’atyo bw’anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, bw’atyo bw’anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa. 21Awo anaatwalanga ente ebweru w’olusiisira, n’agyokya nga bwe yayokya ente ey’olubereberye: kye kiweebwayo olw’ekibi olw’ekibiina.

22Omukulu yenna bw’ayonoonanga, n’akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng’azzizza omusango; 23ekibi ky’ayonoonye bw’anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema; 24awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’embuzi, n’agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw’ekibi. 25Awo kabona anaatoolanga n’engalo ye ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agusiiga ku mayembe g’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n’omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. 264:26 Leev 3:3-5, Kubal 15:28N’amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng’amasavu aga ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw’ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.

274:27,28 Kubal 15:27Era oba ng’omuntu yenna ku bantu ab’omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng’akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng’azzizza omusango; 28ekibi kye ky’ayonoonye bw’anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw’ekibi ky’ayonoonye. 29Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’attira ekiweebwayo olw’ekibi mu kifo eky’ekiweebwayo ekyokebwa. 30Awo kabona anaatoolanga n’engalo ye ku musaayi gwayo, n’agusiiga ku mayembe g’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n’omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto. 31N’amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng’amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.

32Era oba ng’aleeta omwana gw’endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema. 33Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agitta okuba ekiweebwayo olw’ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa. 34Awo kabona anaatoolanga n’engalo ye ku musaayi gw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’aguteeka ku mayembe g’ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n’omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto: 35n’amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng’amasavu g’omwana gw’endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n’omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw’ekibi ky’ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda