
4
14:1 Is 1:22Zaabu ng’eyonoonese! zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse!
Amayinja ag’omu kifo ekitukuvu gafukibwa buli luguudo we lusibuka.
24:2 Yer 19:11Batabani ba Sayuuni ab’omuwendo omungi, abenkana zaabu ennungi,
Nga bayitiddwa nsuwa za bbumba, omulimu gw’emikono gy’omubumbi!
3Era n’emisege giggyayo amabeere, giyonsa abaana baagyo:
Omuwala w’abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu.
44:4 Zab 22:15Olulimi lw’omwana ayonka lwegasse n’ekibuno kye olw’ennyonta:
Abaana abato basaba emmere, so tewali abagibegera.
54:5 2 Sam 1:25Abaalyanga nga beenaanya bawuubaalira mu nguudo:
Abaakulira mu ngoye entwakaavu bawambaatira mmungo.
64:6 Lub 19:25, Mat 10:15, Yud 7Kubanga obutali butuukirivu bw’omuwala w’abantu bange businga obunene ekibi kya Sodomu,
Ekyasuulibwa nga mu kaseera, so tewali eyakissaako omukono.
74:7 Kubal 6:2Abakungu baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata,
Emibiri gyabwe gyasinga amayinja amatwakaavu okumyuka, baali banyirivu nga safiro:
84:8 Yob 30:30Amaaso gaabwe gaasinga ekisiriiza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo:
Eddiba lyabwe lyegasse n’amagumba gaabwe; likaze, lifuuse ng’omuggo.
9Abattiddwa n’ekitala basinga abo abafudde enjala;
Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa olw’okubulwa ebibala eby’omu nnimiro.
104:10 Ma 28:57, 2 Bassek 6:29, Is 49:15, Yer 19:9Abakazi ab’okusaasira okungi bafumbye abaana baabwe bo n’emikono gyabwe bo;
Baabanga ba kulya gye bali mu kuzikirira kw’omuwala w’abantu bange.
114:11 Yer 17:27, Ez 5:13Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe;
Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo.
124:12 Is 53:1Bakabaka b’ensi tebakkiriza, newakubadde bonna abatuula mu nsi zonna.
Ng’omulabe n’oyo abakyawa agenda okuyingira mu miryango gy’e Yerusaalemi.
134:13 Yer 5:31Lwa bibi bya bannabbi baamu n’obutali butuukirivu bwa bakabona baamu,
Abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu wakati mu kyo.
144:14 Kubal 19:16, Is 59:10Bawaba ng’abazibe b’amaaso mu nguudo, boonoonese n’omusaayi,
N’okuyinza abantu ne batayinza kukoma ku byambalo byabwe.
154:15 Leev 13:45Muveewo, bwe baabalangira, nti Ekitali kirongoofu! muveewo, muveewo, temukomako:
Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti Tebakyabeera wano nate.
164:16 Is 24:2Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; takyassaayo mwoyo eri bo:
Tebatya maaso ga bakabona, tebaganza bakadde.
174:17 Yer 3:23; 37:7,8Amaaso gaffe gakyaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa:
Bwe twalindirira twalindirira eggwanga eritayinza kulokola.
184:18 Ez 7:2,3,6, Am 8:2Bacocca ebisinde byaffe, n’okuyinza ne tutayinza kutambulira mu nguudo zaffe:
Enkomerero yaffe eneetera kutuuka, ennaku zaffe zituukiridde; kubanga enkomerero yaffe etuuse.
194:19 Yer 4:13, Kaab 1:8Abatuyigganya basinga embiro empungu ez’omu bbanga:
Batucoccera ku nsozi, baatuteegera mu ddungu.
204:20 2 Bassek 25:5,6, Kung 2:9, Ez 19:4,8; 31:6,17Omukka ogw’omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe;
Gwe twayogerako nti Tulituula mu mawanga wansi w’ekisiikirize ky’oyo.
214:21 Yer 25:15,16Sanyuka ojaguze, ai omuwala wa Edomu abeera mu nsi ya Uzi:
Ekikompe kirigguka kirituuka ne ku ggwe; olitamiira ne weebikkula.
224:22 Is 40:2, Ob 10Okubonereza obutali butuukirivu bwo kutuukiridde, ai omuwala wa Sayuuni;
Takyakutwala nate mu busibe:
Alibonereza obutali butuukirivu bwo, ai omuwala wa Edomu;
Alikunnyonnyola ebibi byo.