
2
12:1 1 Byom 28:2, Kung 3:44Mukama ng’abisseeko ekire ku muwala wa Sayuuni ng’aliko obusungu!
Asudde ku nsi okuva mu ggulu obulungi bwa Isiraeri,
So tajjukidde ntebe ya bigere bye ku lunaku olw’obusungu bwe.
22:2 Zab 89:39,40Mukama amize ennyumba zonna eza Yakobo, so takwatiddwa kisa;
Asudde ebifo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda olw’obusungu bwe;
Abakkakkanyizza okutuuka ku ttaka:
Ayonoonye obwakabaka n’abakungu baamu.
32:3 Zab 74:11; 79:5; 89:46Amazeewo ejjembe lyonna erya 2 Isiraeri ng’aliko ekiruyi;
Azzizzaayo omukono gwe ogwa ddyo mu maaso g’omulabe:
Era ayokezza Yakobo ng’omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna.
42:4 Yer 30:14, Kung 3:12Anaanudde omutego gwe ng’omulabe, ayimiridde n’omukono gwe ogwa ddyo ng’omulabe,
Era asse bonna abaasanyusanga amaaso:
Mu weema ey’omuwala wa Sayuuni mw’afukidde obusungu bwe ng’omuliro.
52:5 2 Bassek 25:9Mukama afuuse ng’omulabe, amize Isiraeri:
Amize amayumba gaamu gonna, azikirizza ebifo bye eby’amaanyi:
Era ayongedde okuwuubaala n’okukungubaga mu muwala wa Yuda.
62:6 Yob 27:18, Is 1:13, Kung 1:4Era aggyeewo eweema ye lwa maanyi, ng’ey’omu lusuku;
Azikirizza ekifo kye eky’okukuŋŋaanirangamu:
Mukama yeerabizza mu Sayuuni okukuŋŋaana okutukuvu ne ssabbiiti,
Era anyoomye kabaka ne kabona olw’okunyiiga kw’obusungu bwe.
72:7 Zab 74:4, Yer 5:31; 23:33,34Mukama asudde ekyoto kye, atamiddwa awatukuvu we,
Awaddeyo mu mukono gw’omulabe ebisenge by’amayumba gaamu:
Bayoogaanidde mu nnyumba ya Mukama, nga ku lunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu.
82:8 2 Bassek 21:13, Yer 14:2Mukama ateesezza okuzikiriza bbugwe ow’omuwala wa Sayuuni;
Aleeze omugwa, omukono gwe taguzizzaayo okuleka okuzikiriza:
Naye akungubazizza olukomera ne bbugwe; biggweerawo wamu.
92:9 Zab 74:9, Kos 3:4Emiryango gye gibulidde mu ttaka; azikirizza amenye ebisiba bye:
Kabaka we n’abakungu be bali mu mawanga eteri mateeka;
Weewaawo, bannabbi be tebalaba kwolesebwa okuvudde eri Mukama.
102:10 Yos 7:6, Ez 7:18Abakadde ab’omuwala wa Sayuuni batudde ku ttaka, basirise;
Batadde enfuufu ku mitwe gyabwe; beesibye ebibukutu:
Abawala ba Yerusaalemi bakoteka emitwe.
112:11 Yob 16:13, Zab 6:7, Is 51:20, Yer 44:7Amaaso gange gaziba olw’amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde,
Ekibumba kyange kifukiddwa ku ttaka olw’okuzikirira kw’omuwala w’abantu bange;
Kubanga abaana abato n’abayonka bazirikira mu nguudo ez’omu kibuga
122:12 Kung 1:11Bagamba bannyaabwe nti Eŋŋaano n’omwenge biri ludda wa?
Bwe bazirikira ng’abaliko ebiwundu mu nguudo ez’omu kibuga,
Emmeeme yaabwe bw’efukibwa mu kifuba kya bannyaabwe.
132:13 Kung 1:12, Ez 26:3Kiki kye nnaakutegeeza nga ndi mujulirwa gy’oli? kiki kye nnaafaananya naawe, ai omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnenkanya naawe, nkusanyuse, ai omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja?
Kubanga ekituli kyo kinene ng’ennyanja: ani ayinza okukuwonya?
142:14 Yer 5:31; 23:33,34Bannabbi bo bakulabidde okwolesebwa okutaliimu okw’obusirusiru;
So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, okukomyawo obusibe bwo:
Naye bakulabidde emigugu egitaliimu n’ensonga ez’okugobebwa.
152:15 Zab 48:2, Yer 18:16, Ez 16:14Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo;
Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti
Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti Obulungi obw’Abatuukirira, Essanyu ery’ensi zonna?
162:16 Yob 16:9,10, Zab 35:21Abalabe bo bonna bakwasamidde nnyo akamwa kaabwe;
Basooza ne baluma obujigi; boogera nti Tumumize;
Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; tulusanze, tululabye.
172:17 Leev 26:14-45, Zab 38:16; 89:42Mukama akoze ekyo kye yateesa;
Atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez’edda;
Asudde so tasaasidde:
Era awadde omulabe okukusanyukirako,
Agulumizizza ejjembe ly’abo abakukyawa.
182:18 Zab 42:3Omutima gwabwe gwakaabira Mukama:
Ai bbugwe ow’omuwala wa Sayuuni, amaziga gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro;
Teweewummuza n’akatono; emmunye y’eriiso lyo terekangayo.
192:19 1 Sam 7:6, Zab 62:8; 119:147,148, 1 Tim 2:8Golokoka, okaabe ekiro ebisisimuka we bisookera;
Fuka omutima gwo ng’amazzi mu maaso ga Mukama:
Yimusa emikono gyo gy’ali olw’obulamu bw’abaana bo abato,
Abaagala okufa enjala buli luguudo we lusibuka.
202:20 Yer 19:9Tunula, ai Mukama, olabe bw’ali gw’okoze bw’otyo!
Abakazi balirya ebibala byabwe, abaana ababuusibwabuusibwa mu mikono gyabwe?
Kabona ne nnabbi balittirwa mu kifo ekitukuvu ekya Mukama?
212:21 2 Byom 36:17Omulenzi n’omukadde bagalamidde ku ttaka mu nguudo;
Abawala bange n’abalenzi bange bagudde n’ekitala:
Obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo; osse so tosaasidde.
222:22 Yer 6:25; 42:17Oyise entiisa zange okukuŋŋaana okuva enjuyi zonna nga ku lunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu,
So tewali eyawona newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama:
Abo be nnabuusabuusa n’endera omulabe wange abamazeewo.