
1
11:1 Ezer 4:20, Yer 7:34; 15:8Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu!
Nga kifuuse okuba nga nnamwandu!
Ekyabanga omukulu mu mawanga, omumbejja mu masaza,
Nga kifuuse kya musolo!
21:2 Zab 6:6, Mub 4:1, Yer 30:14Akaaba nnyo nnyini ekiro n’amaziga ge gali ku matama ge;
Mu baganzi be bonna talina n’omu wa kumusanyusa:
Mikwano gye gyonna bamukuusakuusizza,
Bafuuse abalabe be.
31:3 1:3 Ma 28:64,65, Yer 52:27Yuda agenze mu busibe olw’okubonyaabonyezebwa n’olw’obuddu obuzito;
Abeera mu bannaggwanga, talaba kiwummulo:
Bonna abamuyigganya bamukwatira wabi.
41:4 Yer 14:2, Kung 2:6Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali ajja eri okukuŋŋaana okutukuvu;
Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda:
Bawala be baliko obuyinike, naye yennyini abalagalwa.
51:5 Ma 28:44, 2 Byom 36:20, Yer 12:1; 30:14,15, Dan 9:16Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa;
Kubanga Mukama amubonyaabonyezza olw’olufulube lw’ebyonoono bye:
Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g’omulabe.
61:6 Yer 14:16Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna:
Abakungu be bafuuse ng’ennangaazi ezitalaba muddo,
Era bagenze nga tebalina maanyi mu maaso g’oyo ayigganya.
71:7 Ob 12,13Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez’okulabiramu ennaku n’obuyinike
Ebintu bye byonna ebisanyusa ebyabangawo okuva mu nnaku ez’edda:
Abantu be bwe baagwa mu mukono gw’omulabe, so nga tewali amuyamba,
Abalabe baamulaba ne bakudaalira okuziika kwe.
81:8 Yer 13:22, Ez 16:37, Zek 13:1Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng’ekintu ekitali kirongoofu:
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyi ze:
Weewaawo, assa ekikkowe n’akyuka ennyuma.
91:9 Ma 32:29Empitambi ye yali mu birenge bye; teyajjukira nkomerero ye ya luvannyuma;
Kyavudde akkakkanyizibwa ddala; talina amusanyusa:
Ai Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza.
101:10 Ma 23:3, Zab 79:1, Yer 51:51Omulabe agolodde omukono gwe ku bintu bye byonna ebisanyusa:
Kubanga alabye nga bannaggwanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu.
Be walagirako baleme okuyingiranga mu kibiina kyo.
111:11 Yer 38:9; 52:6Abantu be bonna bassa ebikkowe, banoonya emmere;
Bawaddeyo ebintu byabwe ebisanyusa okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe:
Tunula, ai Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky’agasa.
121:12 Zab 80:12, Dan 9:12Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo?
Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze,
Mukama bw’ambonyaabonyezezza ku lunaku olw’ekiruyi kye.
131:13 Zab 102:3, Yer 8:18, Ez 12:13Yaweereza omuliro mu magumba gange ng’ayima waggulu, ne gugawangula:
Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza ennyuma,
Andeeseeko okuwuubaala n’okuzirika n’okuyongobera okuzibya obudde.
141:14 Ma 28:48Ekikoligo ky’ebyonoono byange omukono gwe gwe gukisibye;
Byezinzezinze, birinnye ku nsingo yange; amazeewo amaanyi gange:
Mukama angabudde mu mikono gy’abo be siyinza kuyimirira mu maaso gaabwe.
151:15 Is 63:2,3Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab’amaanyi wakati mu nze;
Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abalenzi bange:
Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga mu ssogolero.
16Olw’ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi;
Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala:
Abaana bange balekeddwawo kubanga omulabe awangudde.
171:17 Yer 4:31Sayuuni ayanjuluzza emikono gye; tewali wa kumukubagiza;
Mukama alagidde ebya Yakobo abo abamwetoolodde babeere abalabe be:
Yerusaalemi ali mu bo ng’ekintu ekitali kirongoofu.
181:18 1 Sam 12:14,15, Yer 12:1Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye:
Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange:
Abawala bange n’abalenzi bange bagenze mu busibe.
19Nayita baganzi bange, naye ne bannimba:
Bakabona bange n’abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga,
Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe.
201:20 Ma 32:25, Yob 30:27, Is 16:11, Ez 7:15Tunula, ai Mukama; kubanga ndi munaku: emmeeme yange yeeraliikiridde;
Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini:
Ebweru ekitala kinnyaga, mu nju mulimu ng’okufa.
211:21 Yer 50:11, Kung 4:21Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali wa kunkubagiza;
Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese:
Olireeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nze.
221:22 Zab 109:14,15Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go;
Era obakole bo nga bw’onkoze nze olw’okusobya kwange kwonna:
Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n’omutima gwange guyongobedde.