
9
19:1 Kuv 3:8; 13:5, Yos 3:10; 12:8Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey’ensozi, ne mu nsenyi, ne ku ttale lyonna ery’ennyanja ennene Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, bwe baakiwulira; 2ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n’Abaisiraeri, n’omwoyo gumu.
39:3 Yos 6:21,24; 8:26,28; 10:2, 2 Sam 21:1,2Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne Ayi, 4ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng’ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n’amaliba ag’omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa; 5n’engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n’emmere yonna ey’entanda yaabwe ng’ekaliridde ng’ekutte obukuku. 6Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Girugaali, ne bamugamba ye n’abantu ba Isiraeri nti Tuvudde mu nsi wala: kale kaakano mulagaane naffe. 79:7 Ma 7:2, Yos 11:19, Balam 2:2N’abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe? 8Ne bagamba Yoswa nti Tuli baddu bo. Yoswa n’abagamba nti Muli baani? era muva wa? 99:9 Ma 20:15, Yos 2:10; 6:27Ne bamugamba nti Abaddu bo bavudde mu nsi wala nnyo okujja wano olw’erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola mu Misiri, 109:10 Kubal 21:21-35, Ma 1:4ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab’Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka we Kesuboni, ne Ogi kabaka we Basani, eyali mu Asutaloosi. 11N’abakadde baffe ne bonna abaali mu nsi yaffe ne batugamba nti Mutwalire olugendo olwo entanda mu mikono gyammwe, mugende mubasisinkane, mubagambe nti Tuli baddu bammwe: kale kaakano mulagaane naffe. 12Emmere yaffe eno twagisibirira entanda yaffe mu nnyumba zaffe ng’ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n’obukuku: 13n’amaliba gano ag’omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise: n’ebyambalo byaffe bino n’engatto zaffe bikaddiye olw’olugendo olunene ennyo. 149:14 Kubal 27:21Abantu ne batwala ku ntanda zaabwe, ne batabuuza bigambo eri akamwa ka Mukama. 159:15 Yos 11:9Yoswa n’alagaana nabo emirembe, n’alagaana nabo obutabatta: n’abakulu b’ekibiina ne babalayirira. 16Awo mu nnaku essatu, nga bamaze okulagaana nabo, ne bawulira nga baliraanwa baabwe, era nga baali wakati waabwe. 179:17 Yos 18:25-28Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw’okusatu. Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu. 18N’abaana ba Isiraeri ne batabakuba, kubanga abakulu b’ekibiina baabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri. N’ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulu. 19Naye abakulu bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti Twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: kale kaakano tetuuyinze kubakwatako. 209:20 2 Sam 21:2Bwe tunaabakola bwe tutyo, okubaleka nga balamu; obusungu buleme okutubaako, olw’ekirayiro kye twabalayirira. 21Abakulu ne bagamba nti Mubaleke nga balamu: ne babeera abaasi b’enku era abasenyi b’amazzi eri ekibiina kyonna; ng’abakulu bwe baabagamba. 229:22 Yos 9:6,9,16Yoswa n’abayita n’abagamba nti Kiki ekyabatulimbya, nga mwogera nti Tuli wala nammwe: nga muli muffe? 23Kale kaakano mukolimiddwa, so tewalibula kubeera mu mmwe abaddu ennaku zonna, abaasi b’enku era abasenyi b’amazzi eri ennyumba ya Katonda wange. 249:24 Ma 7:1,2Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, n’okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw’obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo. 25Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo: bw’olowooza nga kirungi era kituukirivu okutukola, kola bw’otyo. 26Era bw’atyo bwe yabakola, n’abawonya mu mukono gw’abaana ba Isiraeri okubatta. 279:27 Ma 12:5Ku lunaku luli Yoswa n’abafuula abaasi b’enku era abasenyi b’amazzi eri ekibiina n’eri ekyoto kya Mukama, ne kaakano, mu kifo ky’anaalagiranga.