
23
123:1 Yos 11:23; 13:1; 24:29Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi; 223:2 Ma 31:28, Yos 24:1, 1 Byom 28:1Yoswa n’alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n’emitwe gyabwe, n’abalamuzi baabwe n’abaami baabwe, n’abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi: 323:3 Kuv 14:14, Yos 10:14,42nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira. 423:4 Yos 13:2-7Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw’ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n’amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw’ebugwanjuba. 523:5 Kuv 33:2; 34:11, Kubal 33:53, Ma 4:38; 11:23Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n’abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba. 623:6 Ma 5:32; 28:14, Yos 1:7Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n’okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky’amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono; 723:7 Kuv 23:13,33, Zab 16:4, Yer 5:7, Zef 1:5muleme okuyingiranga mu mawanga gano, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga: 823:8 Ma 10:20; 11:22; 13:4naye mwegattenga ne Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakolanga okutuusa leero. 923:9 Yos 21:44Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag’amaanyi: naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero. 1023:10 Kuv 14:14, Leev 26:8, Ma 3:22; 32:30, Yos 23:3, Is 30:17Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba. 1123:11 Yos 22:5Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe. 1223:12 Kuv 34:16, Ma 7:3, Ezer 9:2Naye oba nga munaddanga ennyuma n’akatono, ne mwegattanga n’amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli: 1323:13 Kuv 23:33, Kubal 33:55, Balam 2:3,21mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n’ekyambika gye muli, n’oluga ku mbiriizi zammwe n’amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa. 1423:14 Yos 21:45, 1 Bassek 2:2Era, laba, leero ŋŋenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse. 1523:15 Leev 26:14-39, Ma 28:15-68Awo olulituuka, ng’ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw’atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw’alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa. 1623:16 Ma 4:26Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.