
19
119:1 Lub 49:7N’akalulu ak’okubiri ne kagwira Simyoni, kye kika eky’abaana ba Simyoni ng’enda zaabwe bwe zaali: n’obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw’abaana ba Yuda. 219:2-8 1 Byom 4:28-33Ne balya obusika bwabwe, Beeruseba, oba Seba, ne Molada; 3ne Kazalusuali, ne Bala, ne Ezemu; 4ne Erutoladi, ne Besuli, ne Koluma; 5ne Zikulagi, ne Besumalukabosi ne Kazalususa; 6ne Besulebaosi, ne Salukeni; ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo: 7Ayini, Limmoni, ne Eseri, ne Asani; ebibuga bina n’ebyalo byabyo: 8n’ebyalo byonna eby’etoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky’obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw’ekika eky’abaana ba Simyoni ng’enda zaabwe bwe zaali. 9Mu kitundu eky’abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw’abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw’abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe.
10N’akalulu ak’okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng’enda zaabwe bwe zaali: n’ensalo ey’obusika bwabwe yatuuka ku Salidi: 1119:11 Yos 12:22n’ensalo yaabwe n’erinnya ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’etuuka ku Malala, n’etuuka ku Dabbesesi; n’etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba; 12n’eva ku Salidi n’ekyamira ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’e Kisulosutaboli; n’ebuna ku Daberasi, n’erinnya ku Yafiya; 13n’eva eyo n’eyita ku luuyi olw’ebuvanjuba n’etuuka ku Gasukeferi, ku Esukazini; n’ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea: 14ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw’obukiika obwa kkono n’etuuka ku Kannasoni: n’enkomerero zaayo zaali ku kiwonvu Ifutakeri; 1519:15 Balam 1:30ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu: ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo. 16Obwo bwe busika obw’abaana ba Zebbulooni ng’enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
17Akalulu ak’okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng’enda zaabwe bwe zaali. 18N’ensalo yaabwe n’etuuka ku Yezuleeri, ne Kesulosi, ne Sunemu; 19ne Kafalaimu, ne Sioni, ne Anakalasi; 20ne Labbisi, ne Kisioni, ne Ebezi: 21ne Lemesi, ne Engannimu, ne Enkadda, ne Besupazzezi; 22ensalo n’etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n’enkomerero z’ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo. 23Obwo bwe busika obw’ekika eky’abaana ba Isakaali ng’enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
24N’akalulu ak’okutaano ne kakwata ekika eky’abaana ba Aseri ng’enda zaabwe bwe zaali. 25N’ensalo yaabwe yali Kerukasi, ne Kali, ne Beteni, ne Akusafu; 26ne Alammereki, ne Amadi, ne Misali; n’etuuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne ku Sikolulibunasi; 2719:27 1 Bassek 9:13n’ekyamira ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Besudagoni, n’etuuka ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’obukiika obwa kkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri; n’ebuna ku Kabuli ku mukono ogwa kkono, 2819:28 Balam 1:31ne Ebuloni, ne Lekobu, ne Kammoni, ne Kana, okutuuka ku Sidoni ekinene; 29ensalo n’ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n’ekyamira ku Kosa; n’enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu: 30era ne Uma, ne Afiki, ne Lekobu: ebibuga amakumi abiri mu bibiri n’ebyalo byabyo. 31Obwo bwe busika obw’ekika eky’abaana ba Aseri ng’enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
32Akalulu ak’omukaaga ne kagwira abaana ba Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’enda zaabwe bwe zaali. 33N’ensalo yaabwe yava ku Kerefu, okuva ku mwera oguli mu Zaanannimu, ne Adaminekebu, ne Yabuneeri, okutuuka ku Lakkumu; n’enkomerero zaayo zaali ku Yoludaani: 34ensalo n’ekyamira ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunosutaboli, n’eva eyo n’ebuna ku Kukkoki; n’etuuka ku Zebbulooni ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, n’etuuka ku Aseri ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba. 35N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, Zeri, ne Kammasi, Lakkasi, ne Kinneresi; 3619:36 Yos 11:1, Balam 4:2ne Adama, ne Laama, ne Kazoli; 37ne Kesedi, ne Ederei, ne Enkazoli; 38ne Ironi, ne Migudaleri, Kolemu, ne Besuanasi, ne Besusemesi; ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo. 39Obwo bwe busika obw’ekika eky’abaana ba Nafutaali ng’enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
40Akalulu ak’omusanvu ne kagwira ekika eky’abaana ba Ddaani ng’enda zaabwe bwe zaali. 41N’ensalo ey’obusika bwabwe yali Zola, ne Esutaoli, ne Irusemesi; 4219:42 Balam 1:35ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Isula; 4319:43 Balam 14:1ne Eroni, ne Timuna, ne Ekuloni; 44ne Eruteke, ne Gibbesoni, ne Baalasi; 45ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gasulimmoni; 4619:46 Bik 9:36,43ne Meyalakoni, ne Lakoni, n’ensalo Yafo gye kiraba. 4719:47 Balam 1:34,35; 18:1,27-31Ensalo ey’abaana ba Ddaani n’ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n’ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe. 48Obwo bwe busika obw’ekika eky’abaana ba Ddaani ng’enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
49Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n’abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe: 5019:50 Yos 24:30, Balam 2:9nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu; n’azimba ekibuga n’abeera omwo.
5119:51 Yos 14:1; 18:1,10Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n’emitwe (egy’ennyumba) za bakitaabwe ez’ebika eby’abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n’obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw’eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi.