
18
118:1 Kuv 33:7, 1 Sam 1:3, Yer 7:12,14; 26:6,9N’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey’okusisinkanirangamu: ensi n’ejeemulukuka mu maaso gaabwe. 2Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo. 318:3 Balam 18:8 Yoswa n’agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa? 4Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw’efaanana ng’obusika bwabwe bwe buli; ne balyoka bajja gye ndi. 518:5 Yos 15:1; 16:1,4Era baligigaba ebitundu musanvu; Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, n’ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw’obukiika obwa kkono. 618:6 Yos 14:2Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe. 718:7 Kubal 32:33, Yos 13:33 Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa. 8Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n’alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng’ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro. 9Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro. 1018:10 Yos 12:7Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n’abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng’emigabo gyabwe bwe gyali.
11Akalulu ak’ekika eky’abaana ba Benyamini ne kajja ng’enda zaabwe bwe zaali; n’ensalo ey’akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n’abaana ba Yusufu. 1218:12,13 Yos 16:1,3N’ensalo yaabwe ey’obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n’erinnya ku muyegooyego ogw’e Yeriko ku luuyi olw’obukiika obwa kkono, n’erinnya mu nsi ey’ensozi ku luuyi olw’ebugwanjuba; n’enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw’e Besaveni. 13Ensalo n’eva eyo n’eyita n’etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw’e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo; ensalo n’ekka ku Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo olw’e Besukolooni eky’emmanga. 1418:14 Yos 15:9,60Ensalo n’ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw’ebugwanjuba (n’egenda) obukiika obwa ddyo ng’eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n’enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky’abaana ba Yuda: olwo luuyi olw’ebugwanjuba. 1518:15-19 Yos 15:5-9N’oluuyi olw’obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n’ebuna ebugwanjuba, n’ebuna oluzzi olw’amazzi ga Nefutoa: 16ensalo n’ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky’omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw’obukiika obwa kkono; n’ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery’omu Yebusi ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, n’ekka ku Enerogeri; 17n’ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n’ekoma mu Ensemesi, n’ebuna Gerirosi, ekiri emitala w’ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni; 18n’eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw’obukiika obwa kkono, n’ekka mu Alaba: 19ensalo n’eyita n’etuuka ku mabbali ag’e Besukogula ku luuyi olw’obukiika obwa kkono: n’enkomerero z’ensalo zaali ku kikono eky’obukiika obwa kkono eky’ennyanja ey’omunnyo, Yoludaani we gufukira: eyo ye nsalo ey’obukiika obwa ddyo. 20Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw’abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng’enda zaabwe bwe zaali. 2118:21 Yos 18:12Era ebibuga eby’ekika eky’abaana ba Benyamini ng’enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi; 22ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri; 23ne Avvimu, ne Pala, ne Ofula; 24ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo; 25Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi; 26ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza; 27ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala; 2818:28 Yos 15:8, Balam 19:10-12ne Zeera, Erefu, n’Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo. Obwo bwe busika obw’abaana ba Benyamini ng’enda zaabwe bwe zaali.