
14
114:1 Kubal 34:17,18Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kanani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika eby’abaana ba Isiraeri bwe baabagabira, 214:2 Kubal 34:13mu kalulu ak’obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n’ekitundu eky’ekika. 314:3 Yos 13:8Kubanga Musa yali ng’agabye obusika obw’ebika bibiri n’ekitundu eky’ekika emitala wa Yoludaani: naye Abaleevi teyabagabira busika mu bo. 414:4 Lub 48:5, 1 Byom 5:1,2Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby’okutuulamu, n’ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery’okulundiramu ente zaabwe n’ebintu byabwe. 514:5 Kubal 35:1,2, Yos 21:2Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi.
614:6 Kubal 14:24,30; 32:12, Ma 1:36,38Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n’amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea. 714:7 Kubal 13:6,30; 14:6-9Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. 814:8 Kubal 13:31-33; 32:9, Ma 1:28Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw’abantu: naye nze nagobererera ddala Mukama Katonda wange. 914:9 Kubal 14:24, Ma 1:36Musa n’alayira ku lunaku luli, ng’ayogera nti Mazima ensi gy’olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n’eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange. 1014:10 Kubal 14:30Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano. 1114:11 Ma 34:7Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng’amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n’okufuluma n’okuyingira. 1214:12 Kubal 13:28,33Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n’ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera. 1314:13 Yos 10:36,37; 15:13,14; 21:11,12Yoswa n’amusabira omukisa; n’amuwa Kalebu omwana wa Yefune Kebbulooni okuba obusika. 14Kebbulooni kye lwava lubeera obusika bwa Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi, ne kaakano; kubanga yagobererera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri. 1514:15 Lub 23:2N’erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n’ewummula okulwana.