
12
112:1 Kubal 21:13,24, Ma 3:8,9Bano be bakabaka ab’ensi, abaana ba Isiraeri be baakuba, ne balya ensi yaabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba: 212:2 Kubal 21:21-26, Ma 2:32,33,36; 3:6,16Sikoni kabaka w’Abamoli, eyabeera mu Kesuboni, era eyafuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu kya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, ye nsalo ey’abaana ba Amoni; 312:3 Yos 11:2 ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey’omunnyo, ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu kkubo ery’e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, wansi wa Pisuga. 412:4 Kubal 21:33-35, Ma 1:4; 3:11N’ensalo ya Ogi kabaka w’e Basani, ow’omu Balefa abaasigalawo, eyabeera mu Asutaloosi ne mu Ederei, 512:5 Ma 3:8,10,14, Yos 13:11era eyafugira ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaadi, ensalo ya Sikoni kabaka w’e Kesuboni. 612:6 Kubal 32:29,33, Ma 3:11,12, Yos 13:8Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isiraeri baabakuba; ne Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa okugirya eri Abalewubeeni, n’Abagaasi, n’ekitundu eky’ekika kya Manase.
712:7 Yos 11:17,23Era ne bano be bakabaka ab’ensi Yoswa n’abaana ba Isiraeri be baakuba emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebugwanjuba, okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri; Yoswa n’agiwa ebika bya Isiraeri okugirya nga bwe baayawulibwa; 812:8 Yos 11:16mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi, ne mu Alaba, ne ku nsozi awakkirwa, ne mu ddungu, ne mu nsi ey’obukiika obwa ddyo; Omukiiti, Omwamoli, n’Omukanani, Omuperizi, Omukiivi, n’Omuyebusi; 912:9 Yos 6:2; 8:29kabaka w’e Yeriko, omu; kabaka w’e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu; 1012:10,11 Yos 10:23kabaka w’e Yerusaalemi, omu; kabaka w’e Kebbulooni, omu; 11kabaka w’e Yalamusi, omu; kabaka w’e Lakisi, omu; 1212:12 Yos 10:23,33, Kubal 1:29kabaka w’e Eguloni, omu; kabaka w’e Gezeri, omu; 1312:13 Yos 10:38,39kabaka w’e Debiri, omu; kabaka w’e Gederi, omu; 14kabaka w’e Koluma, omu; kabaka w’e Yaladi, omu; 1512:15 Yos 10:29kabaka w’e Libuna, omu; kabaka w’e Adulamu, omu; 1612:16 Yos 10:28, Balam 1:22kabaka w’e Makkeda, omu; kabaka w’e Beseri, omu; 17kabaka w’e Tappua, omu; kabaka w’e Keferi, omu; 18kabaka w’e Afeki, omu; kabaka w’e Lasaloni, omu; 1912:19,20 Yos 11:1kabaka w’e Madoni, omu; kabaka w’e Kazoli, omu; 20kabaka w’e Simulonimeroni, omu; kabaka w’e Akusafu, omu; 2112:21 Balam 1:27kabaka w’e Taanaki, omu; kabaka w’e Megiddo, omu; 22kabaka w’e Kedesi, omu; kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri, omu; 2312:23 Yos 11:2kabaka w’e Doli ku lusozi Doli, omu; kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali, omu; 24kabaka w’e Tiruza, omu: bakabaka bonna amakumi asatu mu omu.