
10
110:1 Yos 6:21,24; 8:26-29; 9:15Awo, Adonizedeki kabaka w’e Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n’akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw’atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng’ab’omu Gibyoni baalagaana emirembe n’Abaisiraeri, era nga bali mu bo; 210:2 Ma 11:25ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n’abantu baayo bonna bazira. 3Adonizedeki, kabaka w’e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w’e Kebbulooni, n’eri Piramu, kabaka w’e Yalamusi, n’eri Yafiya, kabaka w’e Lakisi, n’eri Debiri, kabaka w’e Eguloni, ng’ayogera 4nti Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n’abaana ba Isiraeri. 5Awo bakabaka abataano ab’Abamoli, kabaka w’e Yerusaalemi, kabaka w’e Kebbulooni, kabaka w’e Yalamusi, kabaka w’e Lakisi, kabaka w’e Eguloni, ne bakuŋŋaanira wamu, ne balinnya, bo n’eggye lyabwe lyonna, ne basimba olusiisira ku Gibyoni, ne bakirwanyisa. 610:6 Yos 9:6N’ab’e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab’Abamoli abatuula mu nsi ey’ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe. 7Awo Yoswa n’ava mu Girugaali n’alinnya, ye n’abalwanyi bonna awamu naye, n’abazira bonna ab’amaanyi. 810:8 Yos 1:5; 11:6, Balam 4:14Mukama n’agamba Yoswa nti Tobatya: kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go. 9Awo Yoswa n’abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n’alinnya ekiro n’akeesa obudde. 1010:10 Is 28:21Mukama n’abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n’abattira ddala bangi mu Gibyoni, n’abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n’abakuba okubatuusa ku Azeka ne ku Makkeda. 1110:11 Kuv 9:18-26, 1 Sam 7:10, Yob 38:23, Zab 18:12-14, Is 30:30, Kub 16:21Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n’asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n’abakuba mu Azeka, ne bafa: abaafa amayinja ag’omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n’ekitala.
1210:12 Kaab 3:11Awo Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g’abaana ba Isiraeri; n’ayogera mu maaso ga Isiraeri nti
Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni;
Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.
13Enjuba n’eyimirira, omwezi ne gulinda,
Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n’erinda wakati mu ggulu, n’eteyanguwa kugwa ng’olunaku olulamba. 1410:14 Kuv 14:14,25, Ma 3:22, Yos 23:3,10; 10:42, 2 Byom 20:15,17, Is 38:8So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly’omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
15Yoswa n’akomawo, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.
16Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda. 17Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda. 18Yoswa n’ayogera nti Muyiringisirize amayinja amanene mu mulyango gw’empuku, mugiteekeko abantu babakuume; 19naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab’ennyuma mu bo; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe. 2010:20 Yos 8:24Awo Yoswa n’abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n’abasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo, 2110:21 Kuv 11:7abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n’emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n’omu ku baana ba Isiraeri. 22Yoswa n’alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw’empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku. 23Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano mu mpuku ne babamuleetera, kabaka w’e Yerusaalemi, kabaka w’e Kebbulooni, kabaka w’e Yalamusi, kabaka w’e Lakisi, kabaka w’e Eguloni. 2410:24 Zab 110:1Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n’ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n’agamba abaami ab’abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe. 2510:25 Ma 3:21; 7:19, Yos 1:6,9Yoswa n’abagamba nti Temutya, so temukankana: muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw’alibakola bw’atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo. 2610:26 Yos 8:29Oluvannyuma Yoswa n’abafumita, n’abatta, n’abawanika ku miti etaano: ne bawanikibwa ku miti okutuusa olweggulo. 2710:27 Ma 21:22,23Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n’alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw’empuku, ne kaakano.
2810:28 Yos 6:21Yoswa n’amenya Makkeda ku lunaku olwo, n’akikuba n’obwogi bw’ekitala, ne kabaka waamu; n’abazikiririza ddala bo n’emyoyo gyonna egyalimu, n’atasigazaako n’omu: n’akola kabaka w’e Makkeda nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko.
2910:29 Yos 21:13, 2 Bassek 8:22Yoswa n’ava mu Makkeda, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, n’agenda e Libuna, ne balwana n’ab’e Libuna: 30Mukama nakyo n’akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n’akikuba n’obwogi bw’ekitala, n’emyoyo gyonna egyalimu; n’atasigazaamu n’omu; n’akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko.
3110:31 Yos 10:3Yoswa n’ava mu Libuna, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, n’agenda e Lakisi, n’akisimbako olusiisira, n’akirwanyisa. 32Mukama n’akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri, n’akimenya ku lunaku olw’okubiri, n’akitta n’obwogi bw’ekitala, n’emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna.
3310:33 Yos 16:10, Balam 1:29Kolamu kabaka w’e Gezeri n’alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n’amukuba ye n’abantu be, n’atasigazaako n’omu.
3410:34 Yos 10:3Yoswa n’ava mu Lakisi, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, n’agenda e Eguloni; ne bakisimbako olusiisira, ne bakirwanyisa; 35ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n’obwogi bw’ekitala, n’emyoyo gyonna egyalimu n’agizikiririza ddala ku lunaku olwo, nga byonna bye yakola Lakisi.
3610:36 Yos 15:13, Balam 1:10Yoswa n’ava mu Eguloni; n’Abaisiraeri bonna awamu naye, n’agenda e Kebbulooni; ne bakirwanyisa: 37ne bakimenya ne bakitta n’obwogi bw’ekitala, ne kabaka waamu, n’ebibuga byakyo byonna, n’emyoyo gyonna egyalimu; n’atasigazaako n’omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n’akizikiririza ddala, n’emyoyo gyonna egyalimu.
3810:38 Yos 15:15-17, Balam 1:11-13Yoswa n’akomawo, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, n’agenda e Debiri; n’akirwanyisa: 39n’akimenya ne kabaka waamu, n’ebibuga byakyo byonna; ne babitta n’obwogi bw’ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n’atasigazaako n’omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw’atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.
4010:40 Ma 20:16,17, Yos 12:8Bw’atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey’ensozi, n’oluuyi olw’obukiika obwa ddyo, n’ensenyi, n’ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n’atasigazaako n’omu: naye n’azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira. 4110:41 Yos 11:16Yoswa n’abakuba okuva ku Kadesubanea okutuuka ku Gaza, n’ensi yonna eya Goseni, okutuuka ku Gibyoni. 4210:42 Yos 10:14Ne bakabaka abo bonna n’ensi yaabwe Yoswa n’abamenya mulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri. 43Yoswa n’akomawo, n’Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.