
1
1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
21:2 Yo 2:2Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe? 31:3 Zab 78:4Mukibuulire abaana bammwe, n’abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n’abaana baabwe ab’emirembe emirala. 41:4 Zab 78:46; 105:34, Yo 2:25, Am 4:9; 7:1Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n’ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n’ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde. 51:5 Is 24:11Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw’omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe. 61:6 Kub 9:8Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery’amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag’empologoma enkulu. 7Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru. 8Kungubaga ng’omuwala ey’esibye ebibukutu bw’akungubagira bba ow’omu buwala bwe. 91:9 Kuv 29:41, Ez 45:4Ekiweebwayo eky’obutta n’ekiweebwayo eky’okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala. 101:10 Kos 2:9; 4:3Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera. 111:11 Yer 14:4Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw’eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby’omu nnimiro bifudde. 121:12 Is 16:10Omuzabbibu guwotose, n’omutiini guyongobera; omukomamawanga n’olukindu n’omucungwa, emiti gyonna egy’omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b’abantu. 131:13 Mi 1:8, Lub 2:8,9Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab’ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky’obutta n’ekiweebwayo eky’okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe. 141:14 2 Byom 20:3Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama. 151:15 Is 13:6, Yer 46:10, Yo 2:1,11,31; 3:14, Ob 15, Zek 14, 2 Peet 3:10Zitusanze olw’olunaku! kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng’okuzikiriza okuva eri Omuyinza w’ebintu byonna. 161:16 Ma 12:6,7Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n’okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe? 17Ensigo zivunda wansi w’amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose. 181:18 Yer 12:4, Kos 4:3Ensolo nga zisinda! amagana g’ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by’endiga birekeddwawo. 191:19 Zab 50:15, Yer 9:10Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag’omu ddungu, n’ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy’omu nnimiro. 201:20 Zab 104:21Weewaawo, ensolo ez’omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy’amazzi gikalidde, n’omuliro gwokezza amalundiro ag’omu ddungu.