
8
1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti
28:2 Yob 15:2Olituusa wa okwogera ebyo?
Era ebigambo eby’omu kamwa ko birituusa wa okuba ng’empewo ey’amaanyi?
38:3 Lub 18:25, Ma 32:4, 2 Byom 19:7, Yob 34:12, Bar 3:5Katonda anyoola omusango?
Oba Omuyinza w’ebintu byonna anyoola ensonga?
48:4 Yob 1:5Abaana bo oba nga baamwonoona,
Ye n’abagabula mu mukono gw’okusobya kwabwe:
58:5 Yob 5:8Bw’onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda,
Ne weegayirira Omuyinza w’ebintu byonna;
68:6 Zab 7:6, Nge 3:33Singa obadde mulongoofu era wa mazima;
Teyandiremye nno okukuzuukukira,
N’awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.
78:7 Yob 42:12, Yak 5:11Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono,
Naye enkomerero yo ey’oluvannyuma yandyeyongedde nnyo.
88:8 Ma 4:32; 32:7, Yob 15:18Kubanga buuza ab’emirembe egyasooka, nkwegayiridde,
Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala:
9(Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi,
Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:)8:9 1 Byom 29:15, Yob 14:2; 17:7, Zab 102:11, Mub 6:12
10Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira,
Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe?
118:11 Lub 41:2, Is 18:2Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi?
Olulago luyinza okumera awatali mazzi?
12Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa.
Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna.
138:13 Zab 9:17, Nge 10:28, Yob 27:8Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda;
N’essuubi ly’oyo atatya Katonda binaabulanga:
148:14 Is 59:5Obwesige bwe bunaakutukanga,
N’ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi.
158:15 Yob 27:18Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga:
Anaaginywererangako, naye teegumenga.
168:16 Zab 80:11Ayerera mu maaso g’enjuba,
N’amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe.
17Emmizi gye gikwata ku kifunvu,
Alaba ekifo eky’amayinja.
188:18 Yob 7:8,10Bw’anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye,
Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako.
19Laba, eryo lye ssanyu ery’ekkubo lye,
N’abalala baliroka okuva mu ttaka.
20Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira,
So taawanirirenga abo abakola obubi.
218:21 Zab 126:2Bw’alimala alijjuza akamwa ko enseko,
N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
228:22 Zab 35:26; 132:18Abakukyawa balyambala ensonyi;
N’eweema ey’ababi teribaawo nate.