
7
17:1 Yob 14:14Abantu tebalina lutalo ku nsi?
N’ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z’oyo akolera empeera?
27:2 Leev 19:13, Yob 14:6Ng’omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize,
Era ng’oyo akolera empeera bw’asuubira empeera ye:
37:3 Yob 7:16; 30:17Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa,
N’ebiseera eby’ekiro ebinkooya byanteekerwawo.
47:4 Ma 28:67Bwe ngalamira ne njogera nti
Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo;
Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.
57:5 Yob 2:7,8Omubiri gwange gwambadde envunyu n’amafunfugu;
Eddiba lyange liziba ne litulika nate.
67:6 Yob 9:25Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw’omulusi w’engoye,
Era ziggwaawo awatali ssuubi.
77:7 Zab 78:39Woowe, jjukira ng’obulamu bwange mpewo:
Amaaso gange tegakyalaba nate birungi.
87:8 Yob 7:21; 20:9Eriiso ly’oyo andaba terikyandaba nate:
Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.
97:9 Yob 21:13; 30:15Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula,
Bw’atyo n’oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo.
107:10 2 Sam 12:23, Yob 8:18; 10:21, Zab 103:16Taddenga nate mu nnyumba ye,
So n’ekifo kye tekiimumanyenga nate.
117:11 1 Sam 1:10, Yob 10:1; 3:20; 21:4, Is 38:15Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange;
Naayogeza obubalagaze bw’omwoyo gwange;
Neemulugunyisa obuyinike bw’emmeeme yange.
12Nze nnyanja, oba lukwata,
N’okussaako n’onzisaako abankuuma?
137:13 Yob 9:27Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa,
Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange;
14Kale n’olyoka ontiisa n’ebirooto,
N’onkanga n’okwolesebwa:
157:15 Yob 19:20; 30:17Emmeeme yange n’okweroboza ne yeeroboza okutugibwa,
N’okufa okusinga amagumba gange gano.
167:16 Yob 9:21; 10:1,20, Zab 39:13Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna:
Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu.
177:17 Zab 8:4; 144:3, Beb 2:6Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza,
Era ggwe okumussaako omwoyo gwo.
187:18 Zab 11:4,5; 17:3N’okumujjira buli nkya,
N’okumukema buli kaseera?
197:19 Yob 14:6Olituusa wa obutanziyangako maaso,
N’obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
207:20 Yob 16:12, Is 27:3, Kung 3:12Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu?
Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy’oli,
N’okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka?
217:21 Yob 7:8, Dan 12:2Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n’okuggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu;
Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.