
5
15:1 Yob 15:15, Zab 89:5Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw’onookyukira?
2Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru,
N’obuggya butta atalina magezi.
35:3 Zab 37:35, Yer 12:2,3Nalaba omusirusiru ng’asimba emmizi:
Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky’abeeramu.
45:4 Zab 119:155; 127:5, Nge 22:22, Am 5:12Abaana be baba wala n’emirembe,
Era babetentebwa mu mulyango,
So tewali wa kubawonya.
5Omwaka gwabwe omuyala agulya,
N’aguggya ne mu maggwa,
N’omutego guwankirawankira ebintu byabwe.
6Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu,
So n’obuyinike tebuva mu ttaka;
75:7 Lub 3:17-19, Yob 14:1, Mub 2:23Naye abantu bazaalirwa obuyinike,
Ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
8Naye nze, njagala okunoonya Katonda,
Era njagala okulekera Katonda ensonga yange:
95:9 Yob 11:7; 37:5, Zab 40:5; 72:18, Bar 11:33, Kub 15:3Akola ebikulu ebitanoonyezeka;
Eby’ekitalo ebitabalika:
105:10 Zab 65:9,10; 147:8, Yer 5:24; 14:22, Mat 5:45, Bik 14:17Atonnyesa enkuba ku nsi,
N’asindika amazzi ku nnimiro:
115:11 1 Sam 2:7, Zab 113:7Awo n’agulumiza abo abatoowazibwa;
N’abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe.
125:12 Nek 4:15, Zab 33:10, Is 8:10, 1 Kol 1:19Atta enkwe ez’abagerengetanya,
Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise.
135:13 Zab 9:15, 1 Kol 3:19Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo:
N’okuteesa kw’ab’ekyejo kumenyekera ddala.
145:14 Ma 28:29, Yob 12:25, Is 59:10Baba n’ekizikiza emisana,
Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15Naye alokola mu kitala eky’akamwa kaabwe,
Alokola eyeetaaga mu mukono gw’ow’amaanyi.
165:16 Zab 107:42Kale omwavu n’aba n’okusuubira,
Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo.
175:17 Zab 94:12, Nge 3:11, Beb 12:5, Kub 3:19Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw’akangavvula:
Kale tonyooma kubuulirira kw’Omuyinza w’ebintu byonna.
185:18 Ma 32:39, Is 30:26; 61:1, Kos 6:1Kubanga ye alumya, era ye anyiga;
Ye afumita era engalo ze ze ziwonya.
195:19 Zab 34:19; 91:3,10, Am 1:6Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga;
Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
205:20 Zab 33:19Mu njala anaakununulanga obutafa;
Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g’ekitala.
215:21 Zab 31:20Onookwekebwanga awali okubambula kw’olulimi;
So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
225:22,23 Is 11:8,9; 65:25, Kos 2:18Onoosekereranga okuzikirira n’enjala;
So tootyenga nsolo za ku nsi.
23Kubanga onoolagaananga endagaano n’amayinja ag’omu ttale;
N’ensolo ez’omu nsiko zinaabanga n’emirembe gy’oli.
245:24 Yob 21:9Era onoomanyanga ng’eweema yo eri mirembe;
Era onoolambulanga ekisibo kyo n’otobulwa kintu.
255:25 Yob 21:8, Nge 9:11; 10:27Era onoomanyanga ng’ezzadde lyo linaabanga kkulu.
N’enda yo ng’omuddo ogw’ettale.
26Olituuka mu ntaana yo ng’owezezza emyaka mmingi.
Ng’ekinywa ky’eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo.
275:27 Zab 111:2Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo.
Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi.