
41
141:1 Zab 74:14; 104:26Oyinza okuggyangamu egoonya n’eddobo?
Oba okunyigirizanga olulimi lwayo n’omugwa?
241:2 2 Bassek 19:28Oyinza okuyingizanga omugwa mu nnyindo zaayo?
Oba okuwummulanga oluba lwayo n’eddobo?
3Eneekwegayiriranga ebigambo bingi?
Oba eneekugambanga ebigambo ebigonvu?
441:4 21:6Eneeragaananga endagaano naawe,
Ogitwalenga okuba omuddu emirembe gyonna?
5Onoozannyanga nayo nga bw’ozannya n’ennyonyi?
Oba onoogisibiranga abawala bo?
6Ebibiina eby’abavubi binaagifuulanga obuguzi?
Banaagigabaniranga mu basuubuzi?
7Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo,
Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja?
8Giteekeko omukono gwo;
Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw’otyo.
9Laba, essuubi lyayo lya bwereere:
Omuntu taakeŋŋentererwenga bw’agiraba obulabi?
10Tewali mukambwe bw’atyo n’okwaŋŋanga n’ayaŋŋanga okugisaggula:
Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange?
1141:11 Zab 24:1, Bar 11:35Ani eyasooka okumpa, nze mmusasule?
Byonna ebiri wansi w’eggulu lyonna byange.
12Siisirike olw’amagulu gaayo,
Newakubadde amaanyi gaayo amangi, newakubadde okugattibwa kwayo okulungi.
13Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky’okungulu?
Ani anaatuuka munda w’enkoba zaayo ebbiri?
14Ani ayinza okuggulawo enzigi ez’amaaso gaayo?
Entiisa yeetoolodde amannyo gaayo.
15Amagamba gaayo ag’amaanyi ge malala gaayo,
Nga gasibaganye ng’akabonero bwe kanyweza.
16Erimu lyegatta n’ery’okubiri bwe lityo
N’okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago.
17Geegasse gokka na gokka;
Gakwatagana ne gatayinzika kwawulibwa.
18Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana,
N’amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby’enkya.
19Mu kamwa kaayo muva emimuli egyaka,
N’ensasi ez’omuliro zibuuka okuvaamu.
20Mu nnyindo zaayo muva omukka,
Ng’ogw’entamu etokota n’ogw’ebitoogo ebiggya. 21Omukka gwayo gwasa amanda,
Era omuliro guva mu kamwa kaayo.
22Mu nsingo yaayo mubeera amaanyi,
N’entiisa ezinira mu maaso gaayo.
23Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse:
Ginywerera ku yo: tegiyinza kusagaasagana.
24Omutima gwayo guguma ng’ejjinja;
Weewaawo, guguma ng’olubengo.
25Bw’eyimuka ab’amaanyi batya:
Olw’okwekanga nga baliko eddalu.
26Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola;
Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu.
27Ebyuma ebiyita bisasiro,
N’ebikomo miti mivundu.
28Akasaale tekayinza kugiddusa:
Amayinja agavuumuulibwa gafuuka ebiti eri yo.
29Endoddo ziyitibwa ng’ebiti:
Esekerera okuwulukuka kw’akasaale.
3041:30 Is 28:27; 41:15Ebitundu byayo ebya wansi biriŋŋanga engyo eziriko obwogi:
Eteeka ng’eggaali ewuula ku bitosi.
31Etokosa ennyanja ng’entamu:
Efaananya ennyanja amafuta.
32Emasamasisa ekkubo ennyuma waayo;
Obuziba wandibulowoozezza okuba n’envi.
33Tewali ekigyenkana ku nsi,
Ekolebwa obutabaamu kutya.
34Etunuulira buli kintu ekigulumivu:
Ye kabaka w’abaana bonna ab’amalala.