
40
1Era nate Mukama n’addamu Yobu n’ayogera nti
240:2 Yob 33:13Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w’ebintu byonna?
Awakanya Katonda akiwoze.
3Awo Yobu n’alyoka addamu Mukama n’ayogera nti
440:4 Ezer 9:6, Yob 21:5Laba, siriimu ka buntu; n’akuddamu ntya?
Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
540:5 Zab 62:11Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu;
Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6Awo Mukama n’addamu Yobu ng’ayima mu mbuyaga ez’akazimu n’ayogera nti
740:7 Yob 38:3Weesibe nno ekimyu ng’omusajja:
Naakubuuza, naawe onziremu.
840:8 Yob 32:2N’okujjulula onojjulula omusango gwe nsala?
Ggwe ononsalira nze omusango obeere n’obutuukirivu?
940:9 Yob 37:4, Zab 89:13, Is 63:12Oba olina omukono nga Katonda?
Era oyinza okubwatuka n’eddoboozi erifaanana erirye?
1040:10 Zab 93:1; 104:1Weeyonje nno n’okuwooma n’okutiibwa;
Yambala ekitiibwa n’obukulu.
1140:11 Is 2:11, Dan 4:37Fuka obusungu bwo obusukkiridde:
Otunuulire buli muntu ow’amalala omujeeze.
1240:12 Yob 36:20, Is 63:3Tunuulira buli muntu ow’amalala omukkakkanye;
Olinnyirire ababi we bayimirira.
1340:13 Is 2:10Bakise wamu mu nfuufu;
Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
1440:14 Is 59:16Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe
Ng’omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe;
Erya omuddo ng’ente.
16Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo,
N’amawaggali gaayo gali mu binywa eby’omu lubuto lwayo.
17Yeesagga omukira ng’omuvule:
Ebinywa eby’omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez’ebikomo;
Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19Ye ekulira amakubo ga Katonda:
Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
2040:20 Zab 104:26Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya;
Ensolo zonna ez’omu nsiko we zizannyira.
2140:21 Zab 68:30Egalamira wansi w’ebisiikirize by’emiti,
Mu bwekwekero obw’omu ndago ne mu bitosi.
22Ebisiikirize by’emiti bigibikkako;
Emyerebu egy’omu bugga gigyetooloola.
23Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana:
Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24Waliwo anaagikwata bw’eba ng’etunula,
Oba anaawummula ennyindo zaayo n’ekyambika?