
4
1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti
2Omuntu bw’anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga?
Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?
34:3,4 Is 35:3, Beb 12:12Laba, wayigirizanga bangi,
Era wanywezanga emikono eminafu.
4Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde,
Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.
5Naye kaakano kituuse gy’oli n’ozirika;
Kikukomako ne weeraliikirira.
64:6 Yob 1:1; 31:24Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo,
N’amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo?
74:7 Zab 37:25Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango?
Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa?
84:8 Nge 22:8, Kos 10:13, Bag 6:7,8Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu,
Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.
94:9 Kuv 15:8, Zab 18:15, Is 11:4; 30:33, 2 Bas 2:8Bazikirira olw’omukka gwa Katonda,
Era bamalibwawo olw’okuwuuma kw’obusungu bwe.
104:10 Zab 58:6Okuwuluguma kw’empologoma n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
N’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze,
N’abaana b’empologoma ne basaasaana.
124:12 Yob 26:14Kale ekigambo kyandeeterwa kyama,
N’okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo.
134:13 Lub 15:12, 1 Sam 26:12, Yob 33:15, Is 29:10Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw’ekiro,
Otulo otungi bwe tukwata abantu,
14Entiisa n’enkwata n’okukankana,
Amagumba gange gonna n’okunyegenya ne ganyegenya.
15Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange;
Enviiri ez’omubiri gwange ne zinva ku mutwe.
164:16 Kubal 12:8, 1 Bassek 19:12, Zab 17:15Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana;
Ekifaananyi kyali mu maaso gange:
Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti
174:17 Yob 9:2; 25:4; 32:2, Bar 3:4Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu?
Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola?
184:18 Yob 15:15Laba, teyeesiga baddu be;
Ne bamalayika be abalanga obusirusiru:
194:19 Yob 10:9; 13:28; 33:6, Is 64:8, 2 Kol 4:7; 5:1Talisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez’ettala,
Omusingi gwabwe guli mu nfuufu,
Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo!
204:20 Zab 90:5,6, Is 38:12; 57:1Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w’enkya n’akawungeezi:
Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
214:21 Yob 36:12, Nge 5:23; 10:21, Kos 4:6Omugwa gwabwe ogw’eweema tegusimbulwa munda yaabwe?
Bafa, era awatali magezi.