
39
139:1 Zab 29:9; 104:18Omanyi ebiro embulabuzi ez’oku njazi mwe zizaalira?
Oba oyinza okutegeera empewo bwe ziba n’amawako?
2Oyinza okubala emyezi gye zimala?
Oba omanyi ebiro mwe zizaalira?
3Zikutama, zizaala abaana baazo,
Zeggyamu obubalagaze bwazo.
4Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale;
Bafuluma ne batadda.
539:5 Zab 116:16Ani eyata entulege okuba ey’eddembe?
Oba ani eyasumulula enkoba ez’entulege?
639:6 Ma 29:23, Yob 24:5, Zab 107:34, Yer 2:24; 17:6Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo,
N’ensi ey’omunnyo okuba ekifo w’ebeera.
739:7 Yob 3:18Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga,
So tewulira kuleekaana kwa mugobi.
8Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo,
Era enoonya buli kintu ekibisi.
939:9 Kubal 23:22, Is 1:3Embogo enekkirizanga okukuweereza?
Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo?
10Oyinza okusiba embogo n’olukoba lwayo ku kibibi?
Oba eneerimanga ebiwonvu ng’ekuvaako ennyuma?
11Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi?
Oba onoogirekeranga omulimu gwo?
12Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo,
N’okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey’omu gguuliro lyo?
13Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka;
Naye ebiwaawaatiro bye n’ebyoya birina ekisa?
14Kubanga aleka amagi ge ku ttaka,
N’egabugumya mu musenyu,
15Ne yeerabira ng’ekigere kiyinza okugabetenta,
Oba ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnyirira.
1639:16 Kung 4:3Akakanyalira abaana be ng’abatali babe:
Newakubadde ng’ateganira bwereere talina kutya;
1739:17 Yob 35:11Kubanga Katonda yamuggyako amagezi,
So tamuwadde kutegeera.
18Bw’aba nga yeegulumizizza,
Anyooma embalaasi n’oyo agyebagala.
19Wawa embalaasi amaanyi gaayo?
Wayambaza obulago bwayo n’olugiŋŋirima olukankana?
2039:20 Yer 8:6,16Wagibuusa ng’enzige?
Ekitiibwa ky’okufugula kwayo kya ntiisa.
21Etakulira mu kiwonvu, n’esanyukira amaanyi gaayo:
Efuluma okusisinkana n’abasajja abakutte ebyokulwanyisa.
22Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa;
So tedda nnyuma awali ekitala.
23Omufuko guwulungutira ku yo,
Effumu erimasamasa n’akasaale.
2439:24 Am 3:6Emira ettaka n’obusungu n’ekiruyi;
So tekkiriza nga lye ddoboozi ery’ekkondeere.
25Ekkondeere buli lwe livuga, n’eyogera nti Bw’otyo!
N’ekonga olutalo nga lukyali wala,
Okubwatuka kw’abaami n’okuleekaana.
26Magga atumbiira na magezi go,
N’abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo?
2739:27 Yer 49:16, Ob 4Empungu erinnya na kiragiro kyo,
N’ekola ekisu kyayo waggulu?
28Ebeera ku jjinja, n’ennyumba yaayo eri okwo,
Ku linnyo ly’ejjinja n’ekifo eky’amaanyi.
29Erengera omuyiggo ng’eyima okwo;
Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala.
3039:30 Mat 24:28Era n’abaana baayo banuuna omusaayi:
Era awaba emirambo, gy’ebeera eyo.