
37
1Era n’ekyo kikankanya omutima gwange,
Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.
2Muwulire okuwuuma kw’eddoboozi lye,
N’okududuma okuva mu kamwa ke.
3Akusindika wansi w’eggulu lyonna,
N’okumyansa kwe kubuna enkomerero z’ensi.
437:4 Yob 40:9, Zab 18:13; 29:3-9; 68:33Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma;
Abwatuka n’eddoboozi ery’obukulu bwe:
So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
537:5 Yob 5:9Katonda abwatuka kitalo n’eddoboozi lye;
Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.
6Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi;
Era bw’atyo bw’agamba oluwandaggirize,
N’empandaggirize ez’enkuba ye ey’amaanyi.
737:7 Zab 109:27Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu;
Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.
837:8 Yob 38:40, Zab 104:22Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero,
Ne zibeera mu mpuku zaazo,
937:9 Yob 1:19; 9:9, Is 21:1Mu kisenge eky’obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga:
Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.
1037:10 Yob 38:29,30, Zab 147:17Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira:
N’amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.
11Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi;
Abamba ekire eky’enjota ze:
1237:12 Zab 148:8, Nge 8:31Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n’eruuyi,
Bikolenga byonna by’abiragira
Kungulu ku nsi yonna okubeereka:
1337:13 Kuv 9:18,23, 1 Sam 12:18,19, 1 Bassek 18:45, Ezer 10:9, Yob 36:31; 38:23,26,27Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye,
Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.
14Ekyo kiwulire, ggwe Yobu:
Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo.
15Omanyi Katonda bw’abikuutira,
N’ayasa enjota ez’omu kire kye?
1637:16 1 Sam 2:3, Yob 36:4Omanyi okutereezebwa kw’ebire,
Ebikolwa eby’ekitalo eby’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17Ebyambalo byo bwe bibuguma,
Ensi ng’esirise olw’embuyaga ez’obukiika obwa ddyo?
1837:18 Lub 1:6, Is 42:5; 44:24Oyinza okubambira eggulu awamu naye,
Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse?
1937:19 Bef 4:18Tuyigirize bye tuba tumugamba;
Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw’ekizikiza.
20Anaabuulirwa nga njagala okwogera?
Oba omuntu yandyagadde okumirwa?
21Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu:
Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.
2237:22 Zab 104:1Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu:
Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.
2337:23 Zab 99:4, Kung 3:33, 1 Tim 6:16Omuyinza w’ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza:
Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.
2437:24 Zab 130:4, Mat 10:28; 11:25, 1 Kol 1:26Abantu kyebava bamutya:
Tabassaako mwoyo abo bonna abalina emitima egy’amagezi.