
36
1Era nate Eriku ne yeeyongera n’ayogera nti
2Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola;
Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
336:3 Kub 15:3-4Naggya wala okumanya kwange,
Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.
436:4 Yob 37:16Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba:
Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.
536:5 Yob 8:20; 9:4; 12:13, Zab 138:6Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma muntu yenna:
Wa maanyi mu buyinza obw’okutegeera.
636:6 Yob 34:28Takuuma bulamu bw’ababi:
Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.
736:7 Zab 33:18; 34:15; 113:8Taggya maaso ge ku batuukirivu:
Naye awali bakabaka ku ntebe
Gy’abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.
836:8 Zab 107:10Era bwe baba nga basibiddwa n’amasamba,
Era nga bakwasibwa n’emigwa egy’okubonyabonyezebwa;
936:9 Yob 15:25Kale n’abalaga omulimu gwabwe,
N’okusobya kwabwe nga bagize eby’amalala.
1036:10 Ma 32:6, Zab 42:8; 77:6; 149:5, Is 51:13, Bik 16:25Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa,
N’abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.
1136:11 Is 28:26Bwe bawulira ne bamuweereza,
Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa,
N’emyaka gyabwe nga basanyuka.
1236:12 Yob 27:9Naye bwe batawulira banaazikiriranga n’ekitala,
Era banaafanga awatali kumanya.
13Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu:
Tebakuba nduulu bayambwe bw’abasiba.
1436:14 Zab 55:23Bafa nga bakyali bato,
N’obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.
1536:15 Yob 33:15-28, Zab 119:67,71Awonya oyo abonyabonyezebwa olw’okubonyabonyezebwa kwe,
Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.
1636:16 Zab 18:19; 23:5; 36:8Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku
N’akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa;
N’ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.
17Naye ggwe ojjudde omusango gw’omubi:
Omusango n’okusala eby’ensonga bikukwata.
1836:18 Yob 33:24Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n’obugagga
So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.
1936:19 Nge 11:4Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku,
Oba obuyinza bwonna obw’amaanyi go?
2036:20 Yob 34:20,25; 40:12Teweegomba kiro,
Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.
21Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu:
Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.
2236:22 Yob 34:32Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe:
Ani omuyigiriza afaanana ye?
2336:23 Yob 34:10, Is 40:13,14, Bar 11:34, 1 Kol 2:16Ani eyali amulagidde ekkubo lye?
Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?
2436:24 Zab 92:5; 104:33, Luk 1:46, Kub 15:3Jjukira okugulumizanga omulimu gwe,
Abantu gwe baayimbangako.
25Abantu bonna baagutunuulira;
Abantu baagulengera nga bayima wala.
2636:26 Yob 37:5, Zab 90:2; 102:27, 1 Kol 13:12Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi;
Omuwendo gw’emyaka gye tegunoonyezeka.
2736:27 Lub 2:6, Zab 147:8Kubanga awalula waggulu amatondo g’amazzi,
Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:
28Eggulu ne liyiwa
Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.
2936:29 Yob 26:9, Zab 18:11; 105:39Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa,
Okubwatuuka okw’omu weema ye?
3036:30 Yob 37:3Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola;
Era asaanikira ku nnyanja wansi.
3136:31 Yob 37:13, Zab 104:27,28; 136:25, Bik 14:17Kubanga olw’ebyo asala emisango gy’amawanga;
Agaba emmere nnyingi nnyo.
3236:32 Kaab 3:4Abikka engalo ze n’enjota;
Era aziragira zikube sabbaawa.
33Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye,
Era libuulira n’ente kibuyaga ayambuka.