
35
1Era nate Eriku n’addamu n’ayogera nti
235:2 Yob 32:2Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo,
Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
335:3 Yob 34:9N’okwogera n’oyogera nti Kirikugasa ki?
Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
435:4 Yob 34:8,36Nze nnaakuddamu,
Ne banno wamu naawe.
535:5 Yob 22:12Tunuulira eggulu olabe;
Era tunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
635:6 Yer 7:19, Nge 8:36Oba nga oyonoonye omukola ki?
Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
735:7 Yob 22:2,3; 41:11, Bar 11:35Bw’oba n’obutuukirivu, omuwa ki?
Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw’oli;
N’obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w’omuntu.
935:9 Kuv 2:23, Yob 22:8; 34:28Olw’okujoogebwa okungi ennyo bakaaba;
Bakuba enduulu bayambibwe olw’omukono ogw’ab’amaanyi.
1035:10 Ma 32:6, Zab 42:8; 77:6; 149:5, Is 51:13, Bik 16:25Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa,
Awa ennyimba ekiro;
1135:11 Is 28:26Atuyigiriza okusinga ensolo ez’oku nsi,
Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez’omu bbanga?
1235:12 Yob 27:9Bakaabira eyo, naye tewali addamu,
Olw’amalala ag’abantu ababi.
13Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu,
So n’Omuyinza w’ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
1435:14 Yob 9:11; 13:15; 23:8,9Kale aliwulira atya bw’oyogera nti tomulaba,
Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
1535:15 Zab 89:32Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe,
So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
1635:16 Yob 34:35,37; 38:2Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu;
Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.