
33
1Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange,
Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna.
2Laba nno, njasamye akamwa kange,
Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange.
3Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw’omutima gwange;
N’emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa.
433:4 Lub 2:7, Ez 37:9, Bik 17:25Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola,
N’omukka gw’Omuyinza w’ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
533:5 Yob 23:4, Zab 22:17Oba oyinza, nziraamu:
Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati.
633:6 Yob 4:19Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw’oli:
Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.
733:7 Yob 9:34; 13:21; 23:2Laba, entiisa yange teekukange,
So n’okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere.
8Mazima oyogedde nze nga mpulira,
Nange mpulidde eddoboozi ly’ebigambo byo ng’oyogera nti
933:9 Yob 13:18; 27:5; 29:14Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya;
Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu:
1033:10 Yob 13:24Laba, anziyako ensonga,
Ampita mulabe we;
1133:11 Yob 13:27Ateeka ebigere byange mu nvuba,
Alabirira amakubo gange gonna.
12Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga;
Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu.
1333:13 Yob 9:12; 40:2Kiki ekikuwakanya naye?
Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna.
1433:14 1 Sam 3:4,6, Yob 4:13, Zab 17:3Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu,
Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo.
15Mu kirooto, mu kwolesebwa okw’omu kiro,
Otulo otungi bwe tukwata abantu,
Nga babongoota ku kitanda;
1633:16 1 Sam 9:15, Yob 36:10,15, Zab 40:6, Is 50:5Awo n’alyoka aggula amatu g’abantu,
N’ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
17Aggye abantu mu kuteesa kwabwe,
Era akweke abantu amalala;
1833:18 Yob 36:12Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya,
N’obulamu bwe buleme okufa n’ekitala.
1933:19 Yob 30:17N’okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye,
N’okulwana okutamala mu magumba ge:
2033:20 Zab 107:18Obulamu bwe n’okutamwa ne butamwa emmere,
N’emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.
2133:21 Zab 22:17Omubiri gwe gumalibwawo n’okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa;
N’amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya,
N’obulamu bwe busemberera abazikiriza.
2333:23 Lub 16:7; 22:11; 42:23; 48:16, Zab 34:7, Is 43:27, Mal 3:1Oba waliwo wamu naye malayika,
Omutegeeza, omu mu lukumi,
Okwolesa abantu ebibagwanira;
24Awo n’amukwatirwa ekisa n’ayogera nti
Muwonye aleme okukka mu bunnya,
Ndabye ekinunulo.
2533:25 2 Bassek 5:14Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw’omwana omuto;
Adda mu nnaku z’obuto bwe:
2633:26 2 Sam 12:13, Yob 22:27, Zab 17:15, Luk 15:21-24, 1 Yok 1:9Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa;
N’okulaba alaba amaaso ge n’essanyu:
Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.
2733:27 Bar 6:21Ayimbira mu maaso g’abantu n’ayogera nti
Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi,
So ssiriiko kye nnagasibwa:
2833:28 Is 38:17Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya.
N’obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana.
2933:29 Yob 33:14Laba, ebyo byonna Katonda abikola,
Emirundi ebiri, weewaawo, n’esatu eri omuntu,
3033:30 Zab 56:13Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya,
Ayakirwe omusana ogw’abalamu.
31Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire:
Sirika, nange naayogera.
3233:32 Yob 34:33Oba nga olina eky’okwogera nziraamu:
Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu.
33Oba nga si weewaawo, mpulira:
Sirika, nange naakuyigiriza amagezi.