
3
1Awo Yobu n’alyoka ayasama akamwa n’akolimira olunaku lwe.
2Yobu n’addamu n’ayogera nti
33:3 Yer 20:14-18Olunaku luzikirire kwe nnazaalirwa,
N’ekiro ekyayogera nti Omwana ow’obulenzi ali mu lubuto.
4Olunaku olwo lube ekizikiza;
Katonda aleme okulutunuulira ng’ayima waggulu,
So n’omusana guleme okulwakira.
53:5 Yob 10:21,22, Zab 23:4, Is 9:2, Luk 1:79Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa biruyite olw’abyo;
Ekire kirutuuleko:
Byonna ebiddugaza obudde birutiise.
6Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage:
So luleme okusanyukira mu nnaku ez’omu mwaka;
Luleme okutuuka mu muwendo gw’emyezi.
7Laba, ekiro ekyo kibe kigumba;
Luleme okujjirwa eddoboozi ery’essanyu.
83:8 Yob 41:1Abo balukolimire abakolimira obudde,
Abeeteeseteese okusaggula goonya.
93:9 Yob 41:18Emmunyeenye ez’ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza:
Lunoonye omusana, naye lugubulwe;
So terutunuulira bikowe bya nkya:
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
So terwakisa maaso gange obuyinike.
113:11 Yob 10:18,19Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto?
Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?
123:12 Lub 30:3; 50:23Amaviivi ganzikiririza ki?
Oba amabeere, okugayonka?
13Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika;
Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
143:14 Is 58:12Wamu ne bassekabaka n’abakungu b’ensi,
Abeezimbira mu matongo;
15Oba wamu n’abalangira abaalina ezaabu,
Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza:
163:16 Zab 58:8, Mub 6:3, 1 Kol 15:8Oba ng’omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo;
Ng’abaana abawere abatalabanga ku musana n’akatono,
173:17 Yob 17:16Eyo ababi bakoma okuteganya;
Era eyo abakoowu gye bawummulira.
183:18 Kuv 5:13,14Eyo abasibe gye bessiza awamu;
Tebawulira ddoboozi lya mukoza.
19Omuto n’omukulu bali eyo;
N’omuddu aba wa ddembe eri mukama we.
203:20 1 Sam 1:10, 2 Bassek 4:27, Yob 10:1, Nge 31:6Alaba obuyinike aweerwa ki omusana?
N’obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo;
213:21 Nge 2:4, Kub 9:6Abeegomba okufa, naye ne kutajja;
Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa;
22Abasanyuka ennyo nnyini,
Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana?
233:23 Yob 19:9, Is 40:27Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana,
Era Katonda gw’akomedde olukomera?
243:24 Zab 22:1; 38:8; 42:3; 80:5; 102:9Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya,
N’okuwuluguma kwange kufukibwa ng’amazzi.
253:25 Nge 10:24Kubanga kye ntidde kinjijako,
N’ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.
26Sessa so sitereera so siwummula;
Naye ennaku zijja.