
27
127:1 Kubal 23:7Awo Yobu n’aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti
227:2 Luus 1:20, 2 Bassek 4:27, Yob 34:5Nga Katonda bw’ali omulamu alidde ensonga yange;
Era Omuyinza w’ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;
3(Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze,
N’omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;)27:3 Lub 2:7, Yob 33:4
4Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu,
So n’olulimi lwange terwatule bulimba.
527:5 Yob 2:3,9; 13:15Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu:
Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.
627:6 Bik 23:1; 24:16, 1 Kol 4:4Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga:
Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu.
7Omulabe wange abe ng’omubi.
N’oyo angolokokerako abe ng’atali mutuukirivu.
827:8 Yob 8:13, Mat 16:26Kubanga essuubi ly’atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba,
Katonda bw’aggyawo obulamu bwe?
927:9 Zab 18:41, Nge 1:28, Is 1:15, Yer 11:11; 14:12Katonda anaawuliranga okukaaba kwe,
Ennaku bwe zinaamutuukangako?
10Anaasanyukiranga Omuyinza w’ebintu byonna,
N’akaabira Katonda mu biro byonna?
11N’abayigiriza eby’omukono gwa Katonda;
Ekiri n’Omuyinza w’ebintu byonna ssiikikweke.
12Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye;
Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa?
1327:13 Yob 15:20; 20:29Guno gwe mugabo gw’omuntu omubi eri Katonda,
N’obusika bw’abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w’ebintu byonna.
1427:14 Ma 28:41, Kos 9:12Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala;
N’enda ye terikkuta mmere.
1527:15 Zab 78:64Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa,
Ne bannamwandu be tebaakungubagenga.
1627:16 Zek 9:3Newakubadde ng’atuuma ffeeza ng’enfuufu,
N’ategeka ebyambalo ng’ettaka;
1727:17 Nge 13:22, Mub 2:26Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala,
Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza.
1827:18 Yob 8:14,15, Lu 1:6, Is 1:8Azimba ennyumba ye ng’ekiwojjolo,
Era ng’ensiisira omukuumi gy’akola.
1927:19 Yob 24:24, Yer 8:2, Ez 29:5Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga;
Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.
2027:20 Yob 18:11; 22:11; 34:20Ebitiisa bimukwata ng’amazzi;
Kibuyaga amutwala kyama kiro.
21Embuyaga ez’ebuvanjuba zimutwalira ddala n’agenda;
Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi.
2227:22 Yob 16:13Kubanga Katonda alimukasuukirira n’atasaasira:
Yandyagadde okudduka mu mukono gwe.
2327:23 2 Byom 29:8, Kung 2:15, Ez 25:6; 27:36, Zef 2:15Abantu balimukubira mu ngalo,
Era balimusooza ave mu kifo kye.