
26
1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti
2Atalina buyinza ng’omubedde so!
Omukono ogutalina maanyi ng’ogulokodde so!
3Atalina magezi ng’omuweeredde so,
N’oyatula bingi nnyo eby’okutegeera obulungi!
4Ani gw’obuulidde ebigambo?
N’omwoyo gwani oguvudde mu ggwe?
526:5 Zab 88:10Abaafa bakankana
Wansi w’amazzi n’ababeera omwo.
626:6 Yob 28:22; 31:12, Zab 139:8, Nge 15:11, Is 14:9, Kub 9:11Amagombe gali bwereere mu maaso ge,
N’okuzikirira tekulina kye kwebikka.
726:7 Lub 1:2, Yob 9:8Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere,
Era awanika ensi awatali kintu.
826:8 Nge 30:4Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu;
Ekire ne kitayulika wansi we.
926:9 Yob 36:29Aziba obwenyi bw’entebe ye,
N’agyaliirako ekire kye.
1026:10 Yob 38:8-11, Nge 8:29, Yer 5:22Yassaawo embibi ku maaso g’amazzi,
Okutuusa omusana n’ekizikiza we bikoma.
1126:11 Yob 9:6, Zab 75:3; 104:7Empagi ez’eggulu zikankana
Ne zeewuunya olw’okunenya kwe.
1226:12 Yob 9:13, Is 51:15, Yer 31:35Afuukuula ennyanja olw’obuyinza bwe,
Era afumitira ddala Lakabu olw’okutegeera kwe.
1326:13 Is 27:1, Yob 15:20; 20:29Eggulu liyonjebwa olw’omwoyo gwe;
Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
1426:14 Yob 4:12; 40:19Laba, gano ge mabbali gokka ag’amakubo ge:
N’akagambo ke tumuwulirako nga katono!
Naye okubwatuka okw’obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?